Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde wabeewo empuliziganya eya nnamaddala wakati wa Bannabyabuifuzi abassiddwamu Obwesige nebalondebwa mu kalulu akaakaggwa aka 2026, okukola ebintu eby’ensonga ku lw’Enkulaakulana ya Uganda eya nnamaddala.
Omuteregga era abasabye okunywerera ku bisuubizo byebaakola nga banoonya obululu ate n’okumalawo enjawukana.
Obubaka bw’Omutanda obwaEid busomedwa Omumyuka asooka Owa Katikkiro Owek.Prof.Twaha Kawaase Kigongo mu kusaala Eid ku muzikiti e Kibuli.

Beene alagidde abaalondeddwa okubeera abasaale mu kulwanyisa emize egizza enkulaakulana ya Uganda emabega.
Nyinimu awadde abavubuka amagezi okukozesa Emitimbagano nga Ticktok mu ngeri ennungamu, naddala nga batumbula ebyobulimi , Obulunzi n’Enkulaakulana.
Maasomoogi asabye abantu bonna okwongera okusabira Obwakabaka, era n’okwongera okusabira eggwanga okubeeramu obufuzi obulumirirwa omuntu wa bulijjo, n’okumuyamba okukyusa rmbeera y’obwavu abangi gyebawangaliramu, ate n’okukuuma ebyo ebitono byebalina ng’ebibanja n’ettaka.#











