Ebitongole okuli nebya government ebyalina okuweebwa ettaka mu bitundu bye Nsambya ku ttaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka ki Uganda Railways Corporation kizuuliddwa nti tebyalifuna, wabula ate lyawebwa kampuni z’abantu kinnomu.
Wabula kampuni ezo ezawebwa ettaka eryo, tezaali ku lukalala lwa president Museven lweyali alagidde akakiiko kebyettaka okuwa ettaka.
Bino birabikidde ku alipoota yakakiiko ka COSASE akakulemberwa omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi essomeddwa mu parliament, eyavudde mu kwekeneenya engeri ettaka lyekitongole kyegaali y’omukka gyeryatwalibwamu.
Enyonyodde nti President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yawandiikira akakiiko k’eggwanga ek’ebyettaka okubaako yiika z’ettaka 32, zeyalagira ziweebwe ebitongole ebitali bimu.
Ebitongole bino kwaliko National Library, Nakawa Disabled Voctional Training Institute, Ekanisa ya Uganda n’ebirala.
Alipoota eraze nti ate ensobi endala eyakolebwa’akakiiko kano aka Uganda land Commission,yeyokugaba yiika z’ettaka 72, mu kifo kya yiika 32 ezaabalagirwa.
Okusinziira ku alipoota yakakiiko ka Cosase eno, University ya Kampala International University eya Basajjabalaba yeemu kweezo ezaafuna ettaka mu ngeri eriko akabuuzo.
University eno, yakomekereza efunye yiika 14 mu ngeri y’olukujjukujju okusinziira ku alipoota yakakiiko ka COSASE, era ettaka lyeyafuna lyeryazimbibwako ssemadduuka owa ARENA MALL.
Alipoota y’akakiiko ka parliament kano era kakinoogaanyizza nti nnanyini Mestil hotel esangibwa e Nsambya,nayo ettaka kweri liriko akabuuzq.
Ebiwandiiko biraga nti yafuna liizi ya myaka 10 gyeyaali asoose okuweebwa, nazzibwa ku myaka 49 olwo mu bbanga ettono ddala nga liizi tenatambulako wadde ebbanga, neyongerwayo okutuuka ku myaka 99.
Talina wadde obusuulu bweyasasula obwemyaka 89 egyeyongeramu, okuva mu myaka 10 gyeyasooka okuweebwa.
Kati akakiiko kalagidde nti abakulu mu kakiiko kebyettaka abaali mu vvulugu ono bakangavvulwe, olwokugaba ettaka lya government mu bumenyi bw’amateeka.
Ensimbi obuwumbi 69 obwava mu kutunda ettaka ly’eggaali y’omukka, akakiiko kalagidde ministry yebyensimbi ezikwate eziwe ekitongole kino ekyo nti kubanga okuva ettaka lweryatundibwa ekitongole tekizifunanga.
Akakiiko ka palament kano era kabuulidde parliament nti waliwo ebyapa ebirala bingi ebyagabibwa mu bumenyi bw’amateeka ku ttaka lyeggaali y’omukka , era kalagidde bisazibwemu.
Kalagidde nti n’obukiiko bwa district obwagaba ebyapa ebyo bukangavvulwe.
Parliament era alagidde kaliisoliiso wa gavument okunonyereza ku ngeri abamu ku bantu abatwala ettaka lyegaali y’omukka gyebaalifunamu.
Alipoota eno, palament egisembye, neewa government ebbanga eritasuka myezi 6, okutwalayo alipoota ekwata ku binaaba bisiddwa mu nkola nga parliament bwerambise mu alipokta eno.