Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga, awabudde abavubuka obuteetiririra mu kusoma, n’obutakoowa naddala nga balina ebirooto byebaluubirira.
Katikkiro abadde asisinkanye ssaabagunjuzi w’ekisaakaate kya Nabagereka Rashid Lukwago, abadde agenze kumwanjulira degree eyokusatu, gyakoonodde okuva ku University e Makerere.
Degree eno ajifunye mu by’enjigiriza n’okusomesa olulimi oluganda, era ng’abadde ayambibwako ensawo ya Kabaka Education fund.
Katikkiro agambye nti okusoma kwankizo era abantu tebasaanidde ku kusuulirira.
Owek Dr.Rashid Lukwago mukiise mu lukiiko lwa Buganda, agamba nti okusoma kwe kugendereddemu okwongera okumanyisa ensi nti olulimi oluganda kyatunzi, era wakulukozesa okugunjula abayizi bangi naddala ku mutendera gwa university.
Owek Dr. Rashid Lukwago yoomu ku bayizi 102 abafunye degree eyokusatu ku University e Makerere ku matikkira ag’omulundi ogwe 73.
Lukwago akwasizza Katikkiro ebitabo bibiri eby’oleka obuyigirizebwe n’essomo ly’akuguseemu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis