Abatuuze ku kyalo Ggangu B mu gombolola ya Makindye Ssabagabo mu Wakiso n’okutuusa kati bakyaali ku muyiggo gw’omwana eyatwalibwa amataba negamusuula mu mugga Kaliddubi, ku Saturday nga 12 April,2025 n’okutuusa kati omulambo gwe tegulabikanga
Omwana Kibirige Halson yali wa myaka 7, nga kigambibwa nti yali ne baana banne nga baloonda obukyupa mu mazzi, negamusinza amaanyi negamutwa teyaddamu kulabika
Kati ennaku 4 abatuuze bakeera ku mugga guno okunoonya omulambo gw’omwana ,naye nga kati amaanyi gabawedde.
Nakiranda Sandra Maama omuto ow’omwana ono, kuba kitegerekese nti maama w’omwana omutuufu yagenda bweru kukuba kyeeyo,ategezezza nti batuuse nemuggwanika e Mulago okunoonya ku mirambo egiriyo naye omulambo gwabwe gukyaabuze
Mungeri yeemu agambye nti bakozesezza ne balubbira ba police okubayambako okunoonya omulambo gw’omwana naye nga buteerere
Bisakiddwa: Lukenge Sharif