Ssemujju Abdulnoor amanyiddwa nga Minana, eyali omusirikale wa police ng’akolera mu kitongole ki Flying Squad Unit, asiimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ye Nakawa Daphine Ayabare, naggulwako ogw’okubeera mu lukwe lw’okutta eyali omuwaabi wa government Joan Kagezi Namazzi mu 2015.
Minana yasooka kukwatibwa mu mwaka 2017 ku misango gyejimu, wabula ate naayimbulwa.
Yazzeemu okukwatibwa ku Thursday nga 19 June,2025, baamusaanze mu maka ge e Nakyesa Galilaaya mu district ye Kayunga.
Minaana aleeteddwa mu kooti nga muwotofu era nga bamuleese bamusitudde, nga n’ekiseera ky’amaze mu kooti obwedda alaajana nga bwawulira obubi, nga bwalaajanira Gen.Kale Kaihura ajje amutaase.
Atuuse n’okusaba omulamuzi Daphine Ayabare asooke ayimirize olutuula lwa kooti bamufunire ku kookulya, nti kubanga enjala ebadde emutta, olw’okumala ennaku 4 nga talina kyalidde.
Omulamuzi Minana amutumirizza akatogo ne soda nebamuwa naalya.
Olumaze okulya emmere, omulamuzi amusomedde emisango egimuvunaanibwa, wabula tamukkiriza kubaako kyeyewozaako namusindika ku alimanda, era naalagira abakulira ekkomera okumutwala mu ddwaliro asooke yekebejjebwe okumanya embeera y’obulamu bwe, era ebinavaayo bireetebwe lwanazzibwa mu kooti.
Minana agattiddwa ku musirikale munne Nixon Agasirwe gweyali akola naye, naabalala basatu abawerennemba n’omusango gw’okutta eyali omuwaabi wa government e Kiwatule mu Kampala, nga 30 March , 2015.
Bisakiddwa: Betty Zziwa












