Jjaja wa Buganda Omulangira Dr. Kasimu Nakibinge Mbuga asoomozezza abantu ba Buganda okufaayo ennyo ku Masiro ga ba Ssekabaka, nti kubanga byebimu kwebyo ebyongera Buganda ettutumu mu nnono n’ebyobuwangwa.
Omulangira Nakibinge, asinzidde mu Ttabamiruka w’Abalangira, abambejja, ba Ssaava ne ba Nnaava atudde e Kasengejje.
Ku mukolo gwe gumu bagguddewo ekibuga kya Ssekabaka Kamaanya ekyayooyoteddwa.
Omulangira Nakibinge yebazizza Nnalinnya Ndagire Stellah Sserwamutanda awamu ne Naava Kaana Agnes Zawedde abaakwasibwa eddimu ly’okugayooyoota.
Omulangira Ambasador Joseph Ndawula nga yoomu kwabo abafubye ennyo ku mulimu gw’okuyooyoota ekibuga kino, agambye nti bagoberedde obulombolombo bwonna obukwata ku masiro ago.
Mukusooka wabaddewo okusabira Amasiro nga kukulembeddwamu Ssaabasumba wa Ekeresia ya Orthodox mu Uganda Jeronimos Muzeeyi ne Msgr Wynand Katende eyakiikiridde Ssaabasumba Paul Ssemogerere.
Bebazizza Katonda olw’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Naava Kaana Agnes Zawedde, era asinziide wano nasaba abantu bonna okugoberera Ssekabaka Kamaanya eyalwanirira okusimba emiti nti abaami ba kabaka nabo bakirwanirire.
Kabaka Kamaanya yalamula Obuganda wakati wa 1814 okutuuka 1832.

Omukolo guno gwetabyeko ba Katikkiro abaawummula Oweek Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere ne Owek Dan Muliika, Omulangira Khalifan Kakungulu, omumyuka wa President eyawumula Prof. Gilbert Bukenya, Oweek Medard Lubaga Sseggona, Kasujju Lubinga, abataka,omumyuka wa Ssebwana Vincent Kayongo nabalala.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe












