Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agguddewo olusirika lw’Abakulembeze bonna mu Buganda, luyindira ku Muteesa I Royal University.
Olusirika luno lwakumala ennaku bbiri nga (9 ne 10 April,2025).
Lutambulira ku mulamwa ogugamba nti
“Okusoosowaza Omuvubuka mu nteekateeka n’okussa mu nkola pulogulaamu z’Obwakabaka”.
Katikkiro agambye nti abavubuka bwebasoosowazibwa mu nteekateeka z’Obwakabaka, ebiseera bya Buganda ebyomumaaso bijja kuba bitangaavu.
Katikkiro awadde amagezi eri abavubuka abegwanyiza ebifo by’obukulembeze ku mitendera gy’ebyobufuzi egy’enjawulo, okusooka okubaako obukugu bwebafuna era babutwale mu maaso.
Katikkiro agamba nti eby’obufuzi buweereza sso ssi mulimu, nti wabula abagufuula omulimu bebaguvumaganya nebatuuka n’okulya enguzi n’okukola ebikolobero ku balala.
Omumyuuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda, Past Rotary district Governor owa Uganda ne Tanzania Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abavubuka okwenyigira mu bulungibwansi, okubangawoemirimu omuva ensimbi nga bakozesa obuyiiya n’okutumbula obumu.
Ba minister ba Buganda n’ebitongole ebyenjawulo baanjudde embeera y’empeereza y’emirimu bweyimiridde mu Buganda, n’okusoomozebwa okuliwo, era abakiise baliko amagezi gebawadde ku nsonga ezo.
Minister w’abavubuka n’ebyemizannyo Owek. Robert Sserwanga Ssalongo agambye nti abavubuka obutaba na mirimu tekivudde ku bbula lya mirimu, wabula betaaga okulambikibwa ku bintu ebituufu byebalina okukola.
Mu ngeri yeemu abakiise bakubaganyizza ebirowoozo ku ngeri y’okubbululamu ekibiina kya Nkobazambogo ekiserebye ensangi zino, bwogeraageranya n’ekiseera mwekyatandikira.