Olukiiko lwa Buganda luyisizza ebiteeso mukaaga mu lutuula olw’okusatu olw’omwaka ogwa 29,nerusemba endagaano yeyakolebwa wakati wa government eya wakati ne kampuni ya Vinci coffee co. ltd esazibwemu.
Ebiteeso ebiyisidwa mu lukiiko luno, olukiiko lwenyamidde nnyo olw’endagaano eyakolebwa wakati wa government n’omusiga nsimbi gwebagambye nti talina ssente za kukulakulanya obusubuuzi bw’emmwanyi mu Uganda.
Olukiiko lwa Buganda lusembye endagaano eno esazibwemu nti kuba terina nkulakulana yonna gyegenda kuleeta eri abantu ba Buganda ne Uganda yonna.
Olukiiko lusembye Katikkiro okulondoola ensonga y’okuteekawo ttabamiruka w’abalimi b’emmwanyi bonna mu Uganda,n’ekigendererwa eky’okutema empenda ezokuyamba bannauganda okusigala mu bulimi n’obusuubuzi bw’emmwanyi
Olukiiko luvumiridde abantu abatulugunya abavubi, abalunjanja, nabalunzi b’ebyenyanja n’ekigendererwa ky’okwagala okubagoba mu nnyanja n’okubagoba mu mulimu gw’okulunda ebyenyanja.
Olukiiko lusembye obwakabaka okuteekawo enkola enayamba okulambika abantu ku nsonga y’ennyimbe mu Buganda awamu n’okubabangula ku byo busika, n’ebiteeso ebirala.
Olukiiko lusembye nti mu ngeri eyenjawulo luseewo amaanyi mu kugunjula n’okutendeka omwana ow’obulenzi mu Buganda.
Mu lutuula luno Katikkiro ategeezezza obuganda nti Ssaabasajja Kabaka yasiimye okusimbula emisinde gy’amazaalibwa ge ag’omulundi ogwe 67, nga 03rd July,2022.
Wabaddewo okugenda mu maaso mu nkola y’emirimu mu bwakabaka nga besigama ku nteekateeka namutayika ey’omwaka 2018 okutuuka 2023, era emirimu ebitundu 91% gikoleddwa, era nga wasigaddeyo omwaka gumu namutayiika ono okugwako.
Egimu ku mirimu Katikkiro gy’ayanjulidde Obuganda egikoleddwa ekiseera ekiyise kubaddeko okwongera amaanyi mu kuyoyoota amasiro ge Kasubi era nakakasa Obuganda nti omwaka guno omulimu guno gwa kuggwa.
Enteekateeka y’okulwanirira obutondebwensi eyongeddwamu amaanyi nga emiti akakadde kamu n’omusobyo gisimbiddwa.
Obwakabaka buzimbye ennyumba 12 eri abantu abetaaga okubeerwa, Ssettendekero wa Muteesa 1 Royal University essaawa wonna agenda kufuna Charter era emisoso gyonna gyawedde okukolebwako.
Amalwaliro asatu agazimbidwa obwakabaka essaawa yonna gatandika okuweereza.
Ekitongole ky’obwakabaka era kirondeddwa nga ekitongole ekisinze okukunganya omusaayi munsi yonna, era kiweeredwa engule okuva eri International Division of America’s Blood Centers.
Engule ekiweereddwa eyitibwa Blood Drive Partner of the year 2022 Award, era ssenkulu w’ekitongole kino Omukungu Edward Kaggwa Ndagala ali mu America okufuna engule eno.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasiza Obuganda nti obwakabaka bwa Buganda butandisewo office za banampala ku buli mbuga y’essaza n’ekigendererwa ky’okusitula obuwereza bw’obwakabaka mu masaza gonna.
Agambye nti obwakabaka bwakusasula omusaala banampala bano, naasaba abakulembeze mu masaza gano okukolagana nabo obulungi.
Katikkiro era alabudde abakulembeze b’obwakabaka ku mitendera gyonna okubeera abegendereza ku ndagano zebakola nga bakiikiridde obwakabaka, nabasaba okusookanga okwebuuza ku kitongole kya Buganda Royal Law Chambers nga tebanakola nsobi mu ndagaano zino.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe