Eyali sipiika wa parliament ya Uganda Jacob Oulanyah wakuziikibwa ng’ennaku z’omwezi 8 April 2022, lwe lwókutaano lwa wiiki ejja.
Enteekateeka efulumiziddwa minister w’ensonga z’obwa President Milly Babalanda era ssentebe wénteekateeka zókuziika Oulanyah anyonyodde nti omulambo gw’omugenzi gwakutuusibwa ku kisaawe Entebbe ku lwokutaano lwa wiiki eno ku saawa munaana zennyini, gwakuleetebwa kampuni yennyonyi eya Ethiopian Airlines Minister Babalanda agambye nti bwegunaatuusibwa ku kisaawe e Entebbe, abakungubazi okuli abakulu mu gavument nabooluganda lw’omugenzi abatonotono bebajja okukkirizibwayo,gukwasibwe kampuni ya A Plus Funeral management. Ku Sunday ne monday ejja lwegunatwalibwa mu maka ge e Muyenga, abóluganda némikwano bamukubeko eriiso evvanyuma, wategekebweyo nókusaba. Ku lwókubiri omulambo gwa Jacob Oulanyah gwakutwalibwa mu parliament , okusiima emirimu omugenzi gyeyakolera eggwanga n’okumukubako eriiso evvanyuma era gyegujja okusuzibwa. Ku lwokusatu ngennaku z’omwezi 6, omulambo gwakutwaalibwa e Kololo mu kisaawe kyameefuga , era omukulembeze w’eggwanga yajja okubeera omukungubazi omukulu. Okusaba kwé Kololo kwakukulemberwa Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Dr Samuel Kazimba Mugalu Mboowa. Abantu 1500 bokka bebagenda okukkirizibwa e Kololo , omuli ababaka ba parliament, ba memba bolukiiko olufuzi olwa NRM, abalamuzi, abakungu b’amawanga amalala mu Uganda, abakulira ebitongole bya government , abooluganda lw’omugenzi nabakulembeze mu kitundu kye Acholi. Emikolo gyé Kololo olunaggwa, omulambo gwakussibwa ku nnyonyi gutwalibwe mu kyalo Lalogi mu district ye Omoro omugenzi gyazaalwa, olwo ku lwokutaano ngennaku zomwezi 8 April, aziikibwe. Minister Babalanda agambye nti ku lunaku olwo olwókutaano, government yasazeewo lubeere lwakuwummula mu ggwanga lyonna. Minister Babalanda ajjukiza bannansi nti sipiika wa parliament abeera nnamba ssatu mu bitiibwa by’eggwanga, era alina okuziikibwa mu bitiibwa by’eggwanga byonna ebirambuluddwa mu mateeka. Enteekateeka zino zonna zakusaasanyizibwako obuwumbi bwa shs 2 nobukadde 500. |