Jjajja w’Obusiramu Omulangira Dr.Khassimu Nakibinge Kakungulu atadde government ku nninga okunyonyola bannauganda ku kyali emabega w’okutta abantu 7 abafiira mu kulonda e Butambala nga 15 January,2026.
Abantu bano battibwa mu maka g’Omubaka Muwanga Kivumbi eyali yesimbyewo ku kaadi ya NUP, era ab’ebyokwerinda bavaayo nebategeeza nti abaattibwa n’abalala baali bateekateeka kukola bulabe ku police.
Wabula oluvannyuma lw’okulonda omubaka Kivumbi yakwatibwa naggulibwako emisango gy’obutujju n’abantu abalala 24.
Jjajja Mbuga asinzidde mu makaage e Kibuli gyasiibululidde abasiramu oluvannyuma lw’okusaala Idd el Fitil, n’agamba nti abantu government tennaba nambulukufu ku by’okuttibwa kw’abantu 7 n’abalala baagenda n’ebisago.
Omulangira Khassimu Nakibinge Kakungulu era asabye government mu bwangu okutuukiriza obweyamo bwayo eri abasuubuzi abafiirwa emaali yabwe mu mataba mu kibuga Kampala.
Era alabudde government nti ereme kwesuulirayo gwannagamba ku ky’okumalirawo ddala amataba mu kibuga.
Mu kusaala Eid, Ssabasajja Kabaka asiimye naawereza obubaka eri abasiraamu abasaalidde ku muzikiti e Kibuli, nga buno bwetikiddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Dr Twaha Kawaase Kigongo.
Supreme Mufuti wa Uganda, Sheikh Shaban Muhammad Ggalabuzi avumiridde ebikolwa eby’okugobaganya abasuubuzi mu katale ka Owino akayitibwa St.Balikuddembe naddala ewatali kulabulwa ne batuuka n’okufiirwa emaali yabwe.
Akulembedde okusoma Khuttubba Sheikh Ishaka Mutengo, asabye banna byabufuzi abaagwa mu kalulu akaakaggwa 2026, obutayonoona ssente zabwe nti bagenda ku kkooti kuba bajja kufiirwa emirundi 2, olw’enguzi efumbekedde ku kkooti.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe











