Obwakabaka bwa Buganda budduukiridde enteekateeka y’embaga ya Mwenemu Kyabazinga wa Busoga William Wilberforce Gabula Nadiope IV.
Obuyambi obuweereddwayo bubalirirwamu ensimbi ezisoba mu bukadde 120.
Muno mulimu emikutu gy’Obwakabaka egy’amawulire okuli Radio CBS ne BBS Terefayina okuweereza amawulire agakwata ku nteekateeka z’embaga zonna, wamu n’okuweereza butereevu emikolo gy’embaga ku lunaku lwennyini.
Bwabadde ayanjula obuyambi buno eri Katuukiro wa Busoga Owekitiisa Joseph Muvawala n’ekibinja okuva mu Busoga, ababadde mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Buganda ne Busoga tosobola kubaawula kubanga baluganda ddala.
Agambye nti ekigwa e Busoga kiba kigudde ne mu Buganda.
Katikkiro akwasizza Katuukiro Muvawala cheque ya nsimbi obukadde 20, CBS obudde obubalirirwamu ensimbi obukadde bwa shs 14 n’ensimbi enkalu kirimuttu, ate BBS Terefayina n’ewaayo obudde obubalirirwamu ensimbi obukadde 80.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye banna Uganda okusookanga okweyagalira mu bitundu gyebava olwo balyoke beeyagalire mu Uganda yonna.
“Abakulembeze ab’ensikirano gwemusingi gw’ggwanga Uganda, nga Uganda tennabaawo, Buganda yaliwo, nga Uganda tennabaawo Busoga yaliwo…, kale tusaana tusooke tweyagalire mu bitundu gyetuzaalibwa” – Katikkiro Mayiga
Katuukiro Joseph Muvawala, yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’obwasseruganda wakati we ne Kyabazinga n’obuyambi bwonna bwazze abawa mu lugendo lw’obukulembeze wamu n’ebirala byonna.
Yeeyamye okwongera okukuuma oluganda luno, lwongere okubukalira ddala.
Aleese ekiteeso wabeewo enkola nti waakiri n’abeddira emiziro egifaanagana mu Baganda na Abasoga babeere nga tebafuumbiriganwa.
Ensisinkano eno yetabyemu ba minister ba Buganda wamu n’abolukiiko oluteekateeka embaga ya Kyabazinga.
Kyabazinga waakugattibwa ne Inebantu, Jovia Mutesi nga 18 omwezi guno ogwa November,2023 mu lutikko e Bugembe.
Bonna abaneetaba mu kusaba kw’okugatta baakwambala kkanzu n’ekkooti ate abakyala bonna bakwambala gomesi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.