
Wabaluseewo okutya nate mu basubuzi abakolera mu bizimbe ebimu mu kibuga Kampala, oluvanyuma lw’abamu ku bagagga okutandiika okukuula enziji mu maduuka g’abakulembeze abakulemberamu banaabwe, okubagaana okusasula ensimbi z’obupangisa eze myezi gyebaamala nga batudde waka.
Kinajukirwa nti gavumenti bweyatandika okuddiriza ku muggalo, yaggula ebizimbe mu Kampala abasubuzi batandike okukola naye n’okutuuka leero waliwo abagagga banyini bizimbe mu Kampala abakyagaanyi okukaanya n’abapangisa baabwe.
Ssentebe w’ekibiina ekigata abasubuzi mu Kampala ekya Kampala New Generation Kabanda John, kimubuuseko bwasanze ng’edduka lye lyakuulidwamu olugyi ku kizimbe kya Nana Central ne bintu bye nebitwalibwa, ekisaanudde abasubuzi abegattira mu kibiina kino.