
Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza entekateeka ezókutereka omubiri gwa Namasole Margret Nagawa Siwoza eyazaamye.
Mu nteekateeka efulumiziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, omubiri gwa Namasole gwakuterekebwa ng’ennaku z’omwezi 6 Ntenvu ku bbalaza ya wiiki ejja, e Kyaliwajala mu Kyadondo.
Omubiri gwe gwakusooka kutwalibwa mu lutikko e Namirembe okumusabira ku ssaawa nnya ez’okumakya n’oluvannyuma atwalibwe e Kyaliwajjala ku biggya gy’agenda okuterekebwa.
Katikkiro agambye nti okuva leero bbendera za Buganda zigenda kwewuubira wakati w’emirongooti, okutuusa Namasole lwanaterekebwa, n’okugoberera emikolo gyonna egy’ennono n’obuwangwa.
Ssentebe wólukiiko olutekateeka okutereka Namasole era omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro Owek Waggwa Nsibirwa agambye nti entekateeka zonna ezitambulira ku mikolo gino gitandise okugobererwa obulungi okutuusa lwanaterekebwa.
Namasole Margret Nagawa Siwoza abadde maama wa Ssabasajja Kabaka. Y’abadde omusika wa Namasole Rebecca Zirimbuga Musoke, eyali yasikira Namasole Sarah Nalule Kisosonkole eyazaama mu 1974 ng’ono yeyazaala Sssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.