Liverpool FC esitukidde mu kikopo kya FA cup e Bungereza, Chelsea ekomye ku munaabo omulundi ogw’okusatu ogwomuddiringanwa ku kikopo kya FA.
Liverpool efunye ku ssanyu ly’ekikopi kya FA cup, oluvannyuma lw’emyaka 16, ng’ekikonga lusu.
Chelsea kyajisuba ku fayinolo za 2020,2021 kati ne 2022.
Omupiira guno wakati wa Liverpool ne Chelsea ginyumidde mu kisaawe kya Wembley, mu ddaakiika 90 nga tewali alaba katimba ka munne.
Bwebagenze mu bunnya Liverpool ewangudde ku bugoba 6 – 5.
Goolo ya Kostas Tsimikos yewadde Liverpool obuwanguzi.
Liverpool season eno esuuzizza Chelsea ebikopo bibiri ekya FA ne Carabao CUP, ate nga byombi ebiwangulidde ku penati.