Laddu ekubye omusomesa Kisaale Aramathan ow’emyaka 46 neemuttirawo, ku kyalo Nakabbale Care Academy mu district ye Mayuge.
Laddu wemukubudde abadde mu kibiina ng’asomesa abayizi aba P.4 ku ssomero lya Nakabbale Care Academy Primary School, wakati mu bukuba obubadde bufuuyirira.
Sulait Kayanja ssentebe w’ekyalo Nakabbale agambye nti abayizi bbo bali mu mbeera nnungi era tewali yakoseddwa.
Bisakiddwa: Kirabira Fredrick










