Abakulembeze b’ekibiina ky’abasuubuzi aba Kampala City Traders Association beeyamye okunyweza obwasseruganda n’enkolagana ne Radio ya Kabaka CBS.
Mu nsisinkano ebadde mu Masengere, mwebabadde n’abakulu abaddukanya CBS, Ssentebe wa KACITA Dr. Musoke Thadius Naggenda agambye nti CBS ekoze kinene okusitula eby’obusuubuzi mu ggwanga n’okusitula omutindo gw’abantu b’abulijjo, kale nga balina okugisiima ak’ensusso.
Bagiwadde engule eyenjawulo ng’akabonero k’okusiima olwa CBS okubeera eddooboozi erisingayo okutambuA ensonga z’abasuubuzi.
Abakulembeze ba KACITA Beeyanzizza nnyo Ssaabasajja olwa Radio eno gy’eboogeddeko nti ebakozeemu omulimu nabo gwebeenyumirizaamu naddala olwa program zaayo ezisimbye ku by’obusuubuzi.
Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe ku lwa CBS asuubizza abasuubuzi bano nti enkolagana yaayo nabo, yakweyongera okutinta.
Abasuubizza nti ng’eyita mu nteekateeka ya CBS PEWOSA Nsindikanjake, baakutuuka ku musuubuzi ow’awansi beekolemu ebibiina by’obwegassi nga bigenderera okubakulaakulanya.
Omuk. Kawooya mu ngeri yeemu abasuubizza okutandiwo enteekateeka ey’enjawulo okubanguyiza ku kulanga eby’amaguzi byabwe nga bakozesa CBS kubanga etuuka ku bantu bangi (Akatale) ate ng’abantu bagikkiririzaamu.
Aba KACITA abalala abeetabye mu nsisinkano eno kubaddeko, Omwogezi w’ekibiina kino, Hajji Issa Ssekitto, Steven Ssebuggwawo, Sam Muyomba n’abalala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K