Government eyanjudde ennongosereza mu tteeka erifuga amaggye erya UPDF Act 2005, okubaako byetereeza mu ggye ly’eggwanga okutuukagana n’omulembe n’enkyukakyuka ezizze zibaawo mu maggye
Mu nnongosereza zino government zeyanjulidde parliament okuyita mu minister w’ebyokerinda, eyagala okutongoza eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya SFC ng’ekikono ekimu mu ggye ly’eggwabga okwegatta kwebyo ebibaddewo okuli okuli eggye lyokuttaka, eggye lyomubbanga, n’eggye ezzibizi
Ekikono kino ekya SFC okuva lwekyaatandiikibwawo, tekibaddewo mu mateeka okusinziira ku tteeka ly’amaggye.
Etteeka lino likkiriza abakulu mu maggye okutondawo ekikono ky’amaggye wabula parliament yerina okukkiriza, ekintu ekibadde tekikolebwanga ku kikono kino ekya SFC
Mu nnongosereza zino era government eyagala okujjulula akasiimo k’abajaasi okukaggya muministry y’abakozi ba government, atwalibwe wansi wa ministry y’ebyokwerinda yeeba emuvunaanyizibwako
Government era ayagala okuteekerawo yinsuwa eri bannamaggye.
Mu nnongosereza zino, government eyagala okutondawo ekikono ky’obuyinza n’obuvunanyizibwa mu ggye ly’eggwanga kyetuumye the Joint Military Command Council okwegata ku High Command.
Ekikono kino ki Joint Military Command kyakubeera ne ssentebbe nga ye mudduumizi w’amaggye nga wakumyukibwa omumyuka we, era obuvunanyizibwa bwakyo kuliko okuwabula omudduumizi w’amaggye ow’okuntikko nga ye mukulembeze w’eggwanga ku nsonga ezitali zimu, okuli entalo nebirala
Emisaala gya bannamaggye gyakusaalibwangawo olukiiko lwa High Command, nga ssentebe waalwo ye mukulembeze w’eggwanga era omudduumizi w’amaggye owokuntikko.
Mu nnongosereza ez’etteeka ly’amaggye, government eyagala okujjulula obukiiko obukwasisa empisa mu maggye obubadde buyitibwa Unit Displenary Committees , bukyuke buyitibwe Unit court martial
Ennongosereza mu tteeka lino eryamaggye lisindiikiddwa mu kakiiko ka parliament akalondoola ebyokwerinda okulyetegereza.#










