Government etongozza Week ya Science ey`omwaka guno 2025, era netegeeza nti kati Uganda eyongedde okusajjakula mu bya Science, Technology n`obuyiiya.
Week eno eya Science etongorezeddwa e Namanve, egenda ku bumbujjira mu kisaawe e Kololo Omwezi ogujja ogwa June, okuva nga 15 – 20th.
Minister wa Science, obuyiiya ne Technologiya Dr Monica Musenero, agambye nti obudde bunno Uganda ebintu ebisinga obungi ebikozesebwa Bannauganda, bikolebwa wano era nga Bannauganda bebabyekoledde.
Ebimu Ku byanokoddeeyo mulimu kit ezikebera Covid-19, ezikebera omusujja gwensiri, emotooka z’amasanyalaze, eggaali, e piki piki, ebyuma ebiyambako mu kutegeka eddaggala erinnansi nebirala.
Agamba nti kampuni za Uganda zakakola piki piki zamasanyalaze 5000, obugali bw’amasanyalaze 500, Bus zamasanyalaze zisoba mu 50.
Dr Monica Musenero ayongeddeko nti babunyisiza eggwanga lyonna ebifo ebicharginga ebidduuka byonna ebikozesa amasnanyalaze.
Agamba nti n’akawunga akakolebwa mu matooke ga Uganda katunda nga kiralu Ku Katale kensi yonna, ate bwekituuka ku kaawa ava mu mmwanyi zaffe ensi yonna emuyaayaanira.
Bisakiddwa: Musisi John