• Latest
  • Trending
  • All
Government eddizza CBS FM license yaayo oluvannyuma lw’emyaka 14

Government eddizza CBS FM license yaayo oluvannyuma lw’emyaka 14

August 6, 2024
Ssaabasajja Kabaka aweerezza abantu be obubaka bw’Amazuukira ga Yesu – asabye abakwatibwako okussa ebikozesebwa mu malwaliro

Ssaabasajja Kabaka aweerezza abantu be obubaka bw’Amazuukira ga Yesu – asabye abakwatibwako okussa ebikozesebwa mu malwaliro

April 5, 2026
KCCA FC ewanduse ku kikopo kya Stanbic Uganda Cup  2025 – URA FC egikubye 4 -2

KCCA FC ewanduse ku kikopo kya Stanbic Uganda Cup 2025 – URA FC egikubye 4 -2

April 4, 2026
President Museveni ayisizza ekiragiro – eyali omulamuzi Augustine Nshiimye Sebuturo aziikibwe mu bitiibwa by’eggwanga

President Museveni ayisizza ekiragiro – eyali omulamuzi Augustine Nshiimye Sebuturo aziikibwe mu bitiibwa by’eggwanga

April 4, 2026
Abagoberezi ba Kristo mu Uganda batambuzza ekkubo ly’omusaalaba – nebavumirira ebikolwa eby’okutulugunya abantu mu ggwanga n’aabenyigira mu bikolwa ebyekko bekomeko

Abagoberezi ba Kristo mu Uganda batambuzza ekkubo ly’omusaalaba – nebavumirira ebikolwa eby’okutulugunya abantu mu ggwanga n’aabenyigira mu bikolwa ebyekko bekomeko

April 3, 2026
Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda luggaddwawo n’okuyisa ennyiingo 6 zebalina okugoberera mu nkola y’emirimu

Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda luggaddwawo n’okuyisa ennyiingo 6 zebalina okugoberera mu nkola y’emirimu

April 2, 2026
Omutemu asanjaze abaana 4 abasanze ku ssomero e Ggaba – abatuuze bamukutte

Omutemu asanjaze abaana 4 abasanze ku ssomero e Ggaba – abatuuze bamukutte

April 2, 2026
Parliament eyisizza etteeka erikwata ku by’okukebera n’okutereka endagaluse ng’ababyetaaga balina kusooka kufuna lukusa – biri mu The Forensics And Scientific Analytical Services bill, 2025

Embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027  ya Trillion 84 eyanjuddwa eri parliament – yeyongedde trillion 12 okuva ku mbalirira ya 2025/2026

Embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027 ya Trillion 84 eyanjuddwa eri parliament – yeyongedde trillion 12 okuva ku mbalirira ya 2025/2026

April 1, 2026
Government etongozza omwezi gwa April 2026 eri abakozi baayo okwanja eby’obugagga byabwe – bakukozesa omutimbagano

Government etongozza omwezi gwa April 2026 eri abakozi baayo okwanja eby’obugagga byabwe – bakukozesa omutimbagano

April 1, 2026
Emmotoka etwala abayizi ku ssomero etegulukuse neyingirira amaka ga ssentebe w’e Kisala mu Bukomansimbi – abayizi bakoseddwa

Abantu 2 bafudde ekiziyiro kya sigiri e Luweero – omulala ali mu mbeera mbi

April 1, 2026
Parliament eyimirizza eby’okuddaabiriza enguudo mu bitundu – sente akawumbi akamu akaweebwa buli district ababaka bagamba nti tebalaba kyezikola

Parliament eyimirizza eby’okuddaabiriza enguudo mu bitundu – sente akawumbi akamu akaweebwa buli district ababaka bagamba nti tebalaba kyezikola

April 1, 2026
Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

April 1, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Government eddizza CBS FM license yaayo oluvannyuma lw’emyaka 14

by Namubiru Juliet
August 6, 2024
in Amawulire, BUGANDA
0 0
0
Government eddizza CBS FM license yaayo oluvannyuma lw’emyaka 14
0
SHARES
154
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission, mu butongole kiddizza CBS FM  radio license egikkiriza okuweereza emirimu gyayo,  oluvannyuma lw’emyaka 14.

Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2009  Cbs fm government yagyijja ku mayengo g’ebyempuliziganya, era n’emala emyezi 13 n’ennaku 13 nga tenadda ku mpewo, ekyatuumibwa “thirteen  thirteen”.

Okuva olwo ebadde yakkirizibwa okuddamu okuweereza, wabula nga license ejikkiriza okukola mu butongole ebadde tegyiweebwanga.

Minister w’amawuliire n`okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi, bw’abadde akwasa Cbs fm License yaayo, ajisabye okwongera okukwata omumuli gw’ebyempuliziganya era eky`okulabirako ekirungi eri emikutu gy’amawulire emirala mu ggwanga.

Ssenkulu w’ekitongole ekiruŋŋamya eby’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission UCC, George William Nyombi Thembo, yebazizza Cbs olw`okuweereza n`obukugu obw’ekika ekyawaggulu,wadde ng’ebadde ekola  terina license.

Ssenkulu wa Cbs Omukungu Micheal Kawooya Mwebe, agambye nti Cbs fm bweyagyibwa ku mpewo mu 2009, emyaka 14, eyise mu Mayengo agatagambika.

Agamba nti mu mbeera eno Cbs fm yasalawo obuteekubagiza, era n’egenda mu maaso n`okuteekeesa mu nkola ekiragiro kya Beene eky`okulakulanya n’okukyusa embeera zaabwe.

Agambye nti Cbs yayongera amaanyi mu program y’Entanda ya Buganda, etumbudde Oluganda ate nga bwekulakulanya abagyetabamu.

Ayogedde ne ku program endala abavubuka  mwebakontanira n’ebawangula ebirabo nekavu w’ensimbi.

Mu ngeri yeemu Omuk.Kawooya Mwebe ayozaayozezza Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda, olw’okuweza emyaka 31 ng`atudde ku Nnaamulondo ya bajajjabe, era nga CBS yeemu ku bibala.

Asuubizza nti Cbs  egenda kwongera okuweereza eggwanga nga teyekubidde ludda, okugenda mu maaso ne program zaayo eziwa abantu essuubi, ezibakulaakulanya, ezibayigiriza n`okubamanyisa, era ezibasanyusa.

Naye ng`essira yaakusinga kulissa ku program ezikulaakulanya n`okukyusa embeera z’abantu, nga Ssaabasajja Kabaka bweyalagira.

CBS FM yagenda ku mpeewo nga 22 June,1996, gy’emyaka 28 gyeyakamala mu nsiike y’ebyempuliziganya.

Bisakiddwa: Musisi John

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabasajja Kabaka aweerezza abantu be obubaka bw’Amazuukira ga Yesu – asabye abakwatibwako okussa ebikozesebwa mu malwaliro
  • KCCA FC ewanduse ku kikopo kya Stanbic Uganda Cup 2025 – URA FC egikubye 4 -2
  • President Museveni ayisizza ekiragiro – eyali omulamuzi Augustine Nshiimye Sebuturo aziikibwe mu bitiibwa by’eggwanga
  • Abagoberezi ba Kristo mu Uganda batambuzza ekkubo ly’omusaalaba – nebavumirira ebikolwa eby’okutulugunya abantu mu ggwanga n’aabenyigira mu bikolwa ebyekko bekomeko
  • Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda luggaddwawo n’okuyisa ennyiingo 6 zebalina okugoberera mu nkola y’emirimu

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist