Ministry y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo mu government eyawakati wamu n’aboluganda lw’omugenzi Geraldine Namirembe Bitamazire, bafulumizza ennambika enaagobererwa mu kumuziika n’okumuwerekera nga waakuziikibwa ku Wednesday 21 January,2026.
Wakusabirwa ku Monday nga 19 January,2026 ku saawa munaana ku ekereziya ya Our Lady of Fatima e Kansanga, oluvanyuma omubiri gwe guzibweyo mu maka ge e Kiwafu Kansanga.
Ku Tuesday nga 20 January,2026 wakutwalibwa mu lutikko e Lubaga ku ssaawa nnya ezokumakya, n’oluvannyuma atwalibwe e Butambala gyanaazikibwa enkeera ku Wednesday nga nga 21 January,2026.
Geraldine Namireme Bitamazire abadde munna byanjigiriza era munna byabufuzi nga yaliko minister weebyenjigiriza wakati woomwaka gwa 1970 okutuusa mu 1980, ne mu mwaka gwa 2005 okutuusa mu 2011.
Yakiikirirako district ye Mpigi mu parliament wakati wa 2001 okutuuka mu 2011.
Yasomera ku Trinity College Nabbingo, nagenda e Makerere mu mwaka gwa 1964 natikkirwa diploma mu byenjigiriza, era naddayo mu mwaka gwa 1967 ne mu 1987 nafuna degree esooka neeyokubiri mu byenjigiriza.
Omugenzi Geraldine Namirembe Bitamazire, yazaalibwa nga 17 July, 1941, yafudde nga 15 January,2026 ku myaka 84 egy’obukulu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis












