Ssentebe w’ekibiina ky’Olulimi Oluganda era abadde omuwandiisi w’ebitabo Lukabwe Fredruck Kisirikko avudde mu bulamu bwensi.
Fred Kisirikko kigambibwa afunidde obuzibu ku Batvalley Theatre gy’abadde agenze okulaba omuzannyo, ababaddewo balabidde awo ng’agwa wansi nebamuyoolayoola nebamuddusa mu ddwaliro e Mengo gy’afiiridde.
Fred Kisirikko abadde akola program Olulimi n’Obuwangwa buli lwa Sunday ku mukutu gwa CBS 88.8 ,nga abadde agikola n’Omuweereza Godfrey Male Busuulwa.
Ssentebe Lukabwe Kisirikko, yabadde ava kulaba muzannyo mu Batvalley theatre ogwa ba Kayimbira Dramactors, ekimu ku bibiina byakatemba by’abadde asiinga okunyumirwa, olw’okuba n’obuzibu ku maaso omuggo ogubadde gumuyambako okutambula yagusimbye mu bbanga n’asinzittuka n’agwa
Baamuddusizza mu ddwaliro e Mengo gyeyafiiridde.
Ssentebe Lukabwe Kisirikko, abadde alwana ekibiina ky’olulimi Oluganda kikakasibwe ministry evunanyizibwa ku ssemateeka ng’ekibiina ekitongole ekimanyiddwa mu mateeka okuvuunula ebiwandiiko, okubikyusa okuva mu Luganda okubizza mu Luzungu n’okubiggya mu Luzungu okubizza mu Luganda.
Munna byanjigiriza, era eyaliko kaminsona mu ministry yebyenjigiriza Dr. Charles Tonny Mukasa Lusambu, era omu ku babadde bawereza mu kibiina ky’olulimi Oluganda mu Bwakabaka, agamba nti eggwanga lifiriddwa omukulembeze owembavu.
Esther Kyozira akulira ekitongole ky’abaliko obulemu mu Uganda ekya NUDIPU, ne Ruth Nalujja akulira ekibiina kyabaana abatatonzi bulungi enkizi nokuzimba emitwe olwamazzi ekya Spina Bifida and Hydrocephalus Association of Uganda, (SHAU), bagamba nti omugenzi abadde muntu atakabanira ennyo eddembe ly’abaliko obulemu n’okutambulira mu mateeka.
Ku lwa bannakatemba n’abazannyi, Andrew Benon Kibuuka amanyiddwa nga Ddube Ssempaata, era nga yoomu ku bakulira banna bitone mu Uganda agambye nti amawulire gookufa kwa ssentebe Lukabwe gaabakubye wala nga bannabitone.
Ssentebe Fredrick Lukabwe Kisirikko, ajjukirwa nnyo ngomu ku bantu ababadde batakabanira okuzza empisa n’ennono za Buganda mu mujiji omuto.#