Program Entanda ya Buganda egenda kutandika okubumbujira ku mayengo ga CBS FM 88.8 ku Monday nga 07 October,2024, ng’abamegganyi balaga obumanyi mu lulimi oluganda, obuwangwa, ennono n’ebyafaayo bya Buganda.
Entanda yakubeerangawo oluvannyuma lw’amawulire ag’essaawa ssatu ez’ekiro, okuva monday okutuuka Friday.
Entanda Eno egenda kukomekerezebwa mu Nkuuka ya Cbs mu Lubiri e Mengo, nga 31 December,2024.
Omumegganyi anaakira ku banne wakutikkirwa eky’Omuzira mu bazira aweebwe n’ekyapa ky’ettaka, saako ebirabo ebyenjawulo, ebigenda okuweebwa abawanguzi ku mitendera egy’enjawulo.
Entanda Diaspora eyeetabwamu abantu ba Kabaka abawangalira ebunaayira, egenda kukomerezebwa ku Saturday eno nga 05 October,2024 era egenda kubeera buterevu ku Mayengo ga Cbs FM 88.8 ku saawa kumineemu ez’akawungeezi.
Ssenkulu wa CBS Omukungu Micheal Kawooya Mwebe, afalaasasidde abameganyi abagenda okwetaba mu program Entanda ya Buganda ey`omwaka guno, okukulemberamu omulimu gw’okwongera okutumbula Olulimi oluganda, Ennono, n’obuwangwa.
Obubaka bwe bumusomeddwa akulira enzirukanya y’emirimu ku Cbs Omukungu Robert Kasozi, ku mukolo gw’okutongoza Entanda ya Buganda ey’omwaka guno 2024, ogubadde ku Masengere.
Mu mbeera yemu Omukungu Robert Kasozi abameganyi bano abasabye bakole okunoonyereza okumala baleme kwolesa mutindo gwakiboggwe.
Abamu ku abameganyi abayiseemu okwetaba mu Ntanda y`Omwaka guno, okuli ne Munnamawokota Juliet Kasumba owemyaka 75, bawera nkolokooto nti eky’Omuzira mu bazira bagenda nakyo.
SMG modern Plumbers bebamu ku bawaddeyo ebirabo ebigenda okuweebwa abamegganyi.
Bisakiddwa: Musisi John
Ebifaananyi: MK Musa