• Latest
  • Trending
  • All
Ensibuko y’Ekitooke – ekijjudde ebirungi!

Ensibuko y’Ekitooke – ekijjudde ebirungi!

November 9, 2024
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za  Uganda

Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za Uganda

May 24, 2025
Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

May 24, 2025
MUBS etikidde 510  – mulimu abasibe

MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe

May 23, 2025
Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

May 23, 2025
Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

May 23, 2025

UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

May 22, 2025

FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

May 22, 2025

Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire

May 22, 2025

President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze

May 22, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

May 22, 2025
Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

May 22, 2025
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Nature

Ensibuko y’Ekitooke – ekijjudde ebirungi!

by Namubiru Juliet
November 9, 2024
in Nature
0 0
0
Ensibuko y’Ekitooke – ekijjudde ebirungi!
0
SHARES
62
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ensibuko y’ekitooke buli omu aginyumya bubwe okusinziira ku ndaba ye ey’ebintu.

Abamu bagamba nti ekitooke kyava mu Guinea (West Africa) abalala nti kyava mu nsiko y’omu mawanga omuli Malaysia, Indonesia ne Philippines olwo abasuubuzi abawarabu ne bakituusa mu Africa.

Ate abamu bagamba nti Kintu ne Nambi be baaleeta ekitooke nga bava ewa Ggulu.

So nga ate abamu bagamba nti kyaleetebwa Kibuuka omumbaale naasikimba mu Mawokota era olwakisimba naatandikirawo okulwana entalo ze yalwana.ekitooke kye yasimba yakituuma erinnya Manyagalya.

Ebyo nga bitambudde bityo kizibu okwawukanya omuganda n’ekitooke oba n’ettooke anti akirinako ebirungi njolo.

Omuganda yatuuma ebitooke amannya agatali gamu omuli: Ssiira, Nakabululu, Muvubo, Musakala, Nakinnyika, Mukubyakkonde, Nakyetengu, Nakabululu, kibuzi,  Nnamwezi, wano wayagattirako Gonja, Bbogoya, Ndiizi, Musa ne Kisubi.

Emigaso gy’ekitooke eri omuganda:

–        Okulyako emmere ( omuwumbo oba eminwe oba amenvu)

–        Okusogolamu omubisi ( kayinja, Musa oba Kisubi)

–        Endagala okuzifumbisa emmere.

–        Endagala okuzisabikamu ebintu nga ettooke erigenda ku buko.

–        Endagala okuzisibamu ennyama/ ettu ly’ennyama.

–        Endagala okuzikolamu empombo mwe bafumbira enva.

–        Endagala okuzikolamu endeeba ( olumu luleeba ) lwebanaalizaamu abantu eddagala.

–        Emizongaoonyo/ emigongoonyo okugikolamu obukeedo.

–        Emigongoonyo okugyaliira mu ntamu nga bafumba emmere

–        Emigogo okubikka olusuku.

–        Emigogo okuggyako ebinyirikisi okunaaza omufu.

–        Emigogo okugogombolako ebigogo ne babinaabisa mu ngalo nga abava okuziika.

–        Emigogo okubikka olusuku okuleeta obunnyogovu.

–        Ebyasi bisereka enju

–        Ebyayi bisiba ebintu

–        Ebyayi biterekebwamu eby’okulya nga ebinyebwa, kaawa, emberenge.

–        Ebyayi bisiba enku nga omuntu ava okuzityaba mu kibira oba okuzigula.

–        Ebyayi bisona omukeeka.

–        Ettooke litonwa nga ekirabo.

–        Ettooke litundibwa omuntu naafunamu ensimbi.

–      Ekitooke  abakola okunoonyereza bibayamba okubaako bye banoonyerezaako.

–        Embidde esogolwamu omubisi oguvaamu omwenge.

–        Ebigogo abaana babizannyisa nga bakolamu engatto.

–        Omuziηoonyo abaana bagukozesa okuzannya nga bagamba bazadde abaana naddala abawala,

–        Abalenzi bazannyisa omuziηoonyo ng’emmundu.

–        Emigogo gyeyambisibwa okukwata ettaka mu nnimiro ng’abantu bakola obulimiro obutono.

–        Emigogo gyeyambisibwa okukola ekitaliri.

–        Ebigogo bivumbikibwaamu eby’okulya ng’amagi, emmere n’ebirala.

–        Olulagala lweyambisibwa nga eky’okwambala nga babikka ku bitundu ebikwasa ensonyi.

–        Olulagala lwebikkibwa nga manvuuli mu budde obw’enkuba.

–        Amenvu gafumbibwa ne galiibwa nga emmere.

–        Ebyayi birukibwaamu ebiwempe / ebirago.

–        Ebyayi bikolesebwa mu kutimba mu nju.

–        Ebyayi bikolebwaamu  emikeeka okutuulwa.

–         Ettooke litwalibwa ku buko.

–        Ettooke livaako ebikuta ebiriibwa ensolo.

–        Ettooke livaako ebikuta ebikolwamu obugolo

–        Ebikuta by’ettooke bikozesebwa mu kukoomera ensuwa wamu ne kaabuyonjo.

–        Ebikuta by’ettooke bikozesebwa okugimusa ennimiro nga bivunze.

–        Essanja lyeyambisibwa mu kuzimba ensiisira mu lumbe.

–        Essanja likozesebwa mu kuzimba enju/ okusereka wamu nookuwomeka mu mayumba ag’ettaka.

–        Essanja likozesebwa okukola enzigi mu nju ez’essubi ne ku kabuyonjo.

–        Essanja likolwamu ssemufu akanga ebinyonyi mu nnimiro/ obukookolo.

–        Essanja lyesibwa omuntu abeera agenda okuyita mu musulo omungi (abyambala)

–        Essanja likozesebwa mu kukoomera kaabuyonjo.

–        Essanja likozesebwa mu kubabula empombo.

–        Essanja likozesebwa mu kubabula embizzi.

–        Essanja likozesebwa okukuuma ebbugumu mu kwengeza amenvu.

–        Olusanja lwa gonja lweyambisibwa okuyisa mu kazigo k’omuntu kagaziwe.( ssenga we yakikola nga omwana alina akazigo kafunda mu kamwa nga ayagala kagaziwe.)

 

Bikuηaanyiziddwa: Godfrey Male Busuulwa

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za Uganda
  • Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde
  • MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe
  • Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024
  • Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -