• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Waggumbulizi kaaba nako, kaawa munywanyi we

Eno ye Ntanda: Waggumbulizi kaaba nako, kaawa munywanyi we

December 5, 2023
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za  Uganda

Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za Uganda

May 24, 2025
Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

May 24, 2025
MUBS etikidde 510  – mulimu abasibe

MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe

May 23, 2025
Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

May 23, 2025
Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

May 23, 2025

UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

May 22, 2025

FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

May 22, 2025

Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire

May 22, 2025

President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze

May 22, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

May 22, 2025
Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

May 22, 2025
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Waggumbulizi kaaba nako, kaawa munywanyi we

by Namubiru Juliet
December 5, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Waggumbulizi kaaba nako, kaawa munywanyi we
0
SHARES
117
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Omutendera gwa Kasambalyanda mu Program Entanda ya Buganda ku 88.8 CBS fm,  abamegganyi Kisomose Ssegawa James afunye obugoba 27 ne Kayemba Walugembe eyafunye obugoba 24 basuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako, ate Ssennono John Baptist eyafunye obugoba 14, yawanduse.

Biibino ebibuuzo by’Entanda nga 04.11.2023
1. Abaganda balina enkola ey’okupaatiika amannya ku bannaabwe, tuweeyo ebintu bibiri kwebasinziira okupaatiika amannya – Ku mize n’emirimu gyebakola

2. Owoomumbuga lyerimu ku mannya agayitibwa Katikkiro wa Buganda, tuwe ennono yaakyo –  Butikkiro etunudde mu bwenyi ya Twekobe

3. Okusimba eggumba kisoko, kitegeeza ki? –  Kutambuza bigere

4. Ani yawandiika ekitabo, Ebitontome ebiseeneekerevu? – Namaganda Alice

5. Mpa eky’okuyiga mu Lugero, Tunaagabanira mitala yaakuseera – Sikirungi kwesiga bantu, beefuula

6. Waliwo ekika ky’Abaganda ekirina essiga ekkazi, kika ki? –  Ngo

7. Enswa bazizuuka, olwo ensonzi nebazikola ki? –  Bazitoga

8. Mu byambalo ebyambalwa abakazi mulimu kyebayita Omutumba, Omutumba kye ki? – Ye Ssuuka gyebeesiba oba okwekubira

9. Abaganda beesigama ku ki okutuuma ebifo amannya? – Ku mirimu egikolebwa mu bifo, enkula y’ebitundu n’amannya g’abaami abatwala ebifo ebyo

10. Mu nnono z’abaganda, Kabaka bwasiima n’awummuza Katikkiro we, Ddamula aterekebwa wa? –  Wa Nnaalinnya Lubuga we

11. Amakulu g’ekisoko, Okumala gga – Okukola omulimu ng’omuntu tagutaddeeko mwoyo

12. Ani yawandiika ekitabo, Mbayiwa? Waalabyeki Magoba

13. Amakulu g’olugero, Waggumbulizi kaaba nako, kaawa munywanyi we? –  Okugabana n’abalala

14. Erinnya ly’essiga Ekkazi? – Essiga lya Nakyejwe

15. Ettooke bwebaliyunja, olwo embidde nebagikolaki? – Bagitema

16. Emmere Omuganda gyajja mu mbidde, eweebwa linnya ki? – Migomba

17. Embeera bbiri Abaganda zebasinziirako okutuuma abantu amannya – Ekika ky’omuntu n’enkula y’omwana

18. Omuzizo omukulu gumu ku Katikkiro n’Olubiri –  Tasula mu lubiri

19. Okumala omuntu obwoya ku ntumbwe –  Kutambuza muntu bbanga ddene ng’akyayagala takifuna

20. Omuwandiisi w’ekitabo Omulya mmere Kkoyi –  Kizza Mukasa

21. Ekyokuyiga mu Lugero, Bwogenda ebulya nkoko toleka kambe – Okwetegekera embeera obudde bwonna

22. Mu bika by’abaganda mulimu ekirina essiga ekkazi, lisangibwa ku kyalo ki? –  Mabanda Butambala

23. Kasooli bwebamunoga, essubi likolwa litya? –  Lijjirwa

24. Amagi g’ensekere nga mangi nnyo nga  gali ku mutwe gaweebwa linnya ki? –  Omuwempe

25. Emizizo ebiri egidda ku kitooke kya gonja –  Endagala zaakyo tezisaaniika n’ebyayi byakwo tebisiba ttu lyonna

26. Embuzi gyebayita Nnyamatekaawa, eba efaanana etya? – Embuzi enkapa ennyo

27. Okukubagana empawa kitegeeza ki? –  Obutakwatagana mu byemwogera

28. Ebbala eggazi erigenze mu lugoye, Omuganda yaliwa linnya ki? –  Ekibambya

29. Olugero: Ayagala omulongo – ayagala n’olukoba

30. Ekigambo ku Mazzi mu lulimi oludda ku bukomazi kitegeeza ki?  – Oluuyi lw’olubugo olutali lwakungulu

31. Omulungi tabulako kamogo, tuwe ekitonde ekijjayo obulungi embeera eyo. – Embwa

32. Enjuki esooka okugenda webasogolera ekwatibwa, olwo nebagikola ki? – Bagisiba ku kugulu kw’omusogozi

33. Eddoboozi eriva mu mugogo nga bayunja ettooke – Nnabangogoma

34. Okwekansa kisoko, kitegeeza ki? – Omuntu okukola ekintu ng’alaga obumanyi

35. Emyugu egikula obulungi giba n’empambo, empambo kye ki?  – Ensigo z’emyungu

36. Empaka ennemeremu – Zikubya mukyawe

37. Embidde enkalu ziweebwa linnya ki? – Mutere

38. Ebitundu bibiri eby’omubiri gw’omuntu ebikozesebwa okukongoola omuntu – Omumwa n’engalo

39. Waliwo ebinywebwa lwebiyitibwa ebijuguli, byebiriwa? –  Ebisiike

40. Nnakavundira kitegeeza ki? – Kasasiro atuumiddwa awamu n’avunda ate n’omubisi oguva mu mbidde ezengedde ennyo

41. Omutaka w’e Ssenyi kisoko, Omutaka w’e Ssenyi yaani? –  Mugogo

42. Olugero: Ssiimuwuune – Y’afa n’omwami

43. Okuggyawo ekibano, mukolo gwabuwangwa, tuweeyo engeri emu ey’okuggyawo ekibano – Kuggyawo gwoto

44. Okwetyabira akalimu obuwuka kisoko, kaba ka ki ako –  Kaku

45. Entengereze kye ki? –  Embeera y’omuntu otya okugwa

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za Uganda
  • Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde
  • MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe
  • Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024
  • Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -