• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda – Omukulu atava ku nte – Y’aziza abaana ennyama

Eno ye Ntanda – Omukulu atava ku nte – Y’aziza abaana ennyama

November 22, 2023
MUBS etikidde 510  – mulimu abasibe

MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe

May 23, 2025
Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

May 23, 2025
Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

May 23, 2025

UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

May 22, 2025

FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

May 22, 2025

Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire

May 22, 2025

President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze

May 22, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

May 22, 2025
Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

May 22, 2025
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

May 21, 2025
Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

May 21, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda – Omukulu atava ku nte – Y’aziza abaana ennyama

by Namubiru Juliet
November 22, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda – Omukulu atava ku nte – Y’aziza abaana ennyama
0
SHARES
813
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abamegganyi Kisomose Ssegawa eyafunye obugoba 26 ne Nnassiwa Pross eyafunye obugoba 21 basuumusiddwa okugenda mu lumeggana oluddako olwa Program Entanda ya Buganda ate Bbanja Steven eyafunye 17 yawanduse.

Biibino ebibuuzo by’entanda ebyababuuziddwa nga 21. November,2023.

1. Tuwe ekintu kimu ekisookera ddala okweyambisibwa mu kwogeza omuzimu oguba gugaanye okwogera – Bagunyookeza kawunyira

2. Ani yawandiika ekitabo Gattimpa Gatimpule – Stefano Busuulwa

3. Olugero: Alya abyamukama we nga tasenguse – Taba mubbi

4. Tuwe akalombolombo ka Ssekabaka Ssuuna II akamanyiddwa? – Kabaka butaddamu kulaba ku nnyina

5. Tuwe amakulu g’ekigambo Okulumisa omuntu ekivu – Okuttisa omuntu emmundu

6. Mu 1969 Kabaka Edward Muteesa II lweyava mu nsi muno, waakayitawo emyaka emeka – 54

7. Ani Nnaalinya wa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II? – Nnaalinnya Agnes Nabalago

8. Tereeza ssentensi, Bagenze kusala ssubi – Bagenze kujjira ssubi

9. Mu lulimi oludda ku mpewo, waliwo omuzimu oguyitibwa Katawadda, gwegutya? – Gwemuzimu omukadde ennyo

10. Ani yawandiika ekitabo Eddaame lya Nsimbi? – Dan Kyagaba ne banne

11. Olugero: Nakuddamu ntya jjo – Bwakusiba akunyweza

12. Ekimera ekyasibukako erinnya Nnamasole okubeera nnyina wa Kabaka – Ekiggamansole

13. Amakulu g’ekisoko, Okukwata mu gabuguma – Okulya emmere y’amatooke

14. Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alina embiri bbiri mu Buddu, ze ziriwa? – Nkoni ne Lukunyu

15. Tereeza ssentensi, Bagenze kukungula bulo – Bagenze kukesa bulo

16. President Amiini yawambibwa 1979, waakayitawo emyaka emeka? – Emyaka 44

17. Omuzimu gunyokezebwa ddi ne kaamulali okusinziira ku nnono y’Abaganda? – Bweguba gugaanye okwogera

18. Ani yawandiika ekitabo Luganda Proverbs? – Wolsa

19. Olugero: Omukulu atava ku nte – Y’aziza abaana ennyama.
20. Nnamasole ye maama wa Kabaka, tuweeyo amannya amalala abiri – Nnabijjano, Kanywabbumba

21. Omuntu okuba nga tasiba zikweya kisoko, kitegeeza ki? – Omuntu atasaagirwako

22. Enjole ya Ssekabaka Muteesa II yakomezebwawo mu Buganda mu 1971, gye myaka emeka? – 52

23. Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II ani gweyasooka okukwasa Ddamula? – Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere

24. Tereeza ssentensi, Tuva kukungula muwemba – Tuva kusala muwemba

25. Tuwe emigaso ebiri egyamazzi ng’ekyobuwangwa – Tugafumbisa emmere, gakozesebwa ku mikolo gy’obuwangwa

26. Tuwe erinnya eddala Omuganda lyeyawa Enkoko sseggwanga – Walukagga

27. Olugero: Toba ggwe – Wewawonerwa

28. Leeta ekisoko ekigya mu mboozi eno, Mugoziita yayise ebibuuzo bye – Yabikubye oluku mu mutwe

29. Enkuku ensiru y’etya? – Egg

30. Okusala amayira kitegeeza ki? – Okweraliikirira

31. Enkulukuku eyitibwa ddi entawumba? – Ssinga tugissaamu abalongo ababuuse

32. Tuwe erinnya ettongole eriweebwa ekintu Lubaale Muwanga mwakolera – Engatto

33. Ekipimo omukyala mwapimira omukeeka gwaluka? – Bifuba

34. Olugero: Emitala emirulumi – Gisengwa na birembeezi

35. Ebisige ebikula nga bitono nnyo Omuganda yabiwa linnya ki? – Byamunguuba

36. Ekisoko; Emiriro okunyooka kitegeeza ki? – Gaba masasi

37. Omwenge gwa lubaale Nnakayima guba gwangerii ki? – Mata

38. Waliwo Kabaka eyazaalira Buganda atalina mikono na magulu, yaani? – Ssekabaka Kayemba

39. Embuzi enkazi eweebwa linnya ki? – Nnakabege

40. Mu mpisa y’abalimi b’entungo mulimu ekikolwa ky’okugisera, kikolwa ddi? – Nga baakamala okusimba entungo

41. Okusuulayo akayinja, kisoko kitegeeza ki? – Okuyita awantu nga toyagala bakulabe

42. Olugero: Okulwawo – kukusabisa mukazi wo gonja.

43. Endokwa ey’omutuba eroka okuva ku mulandira eyitibwa guta- Nnanda.

44. Erinnya ly’ekifo ekitongole omusangibwa embuga ya lubaale Ddungu? – Mabira

45. Abaganda bawanuuza nti emabega w’ekiswa wabaayo ensolo, Omuganda yagiwa erinnya ettongole, lyeriwa? – Akabuuya.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe
  • Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024
  • Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti
  • UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 
  • FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -