• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Nkalye nkawulire asula teyeebase

Eno ye Ntanda: Nkalye nkawulire asula teyeebase

December 6, 2023

UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

May 22, 2025

FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

May 22, 2025

Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire

May 22, 2025

President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze

May 22, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

May 22, 2025
Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

May 22, 2025
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

May 21, 2025
Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

May 21, 2025
Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

May 21, 2025
Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

May 21, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi

May 21, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Nkalye nkawulire asula teyeebase

by Namubiru Juliet
December 6, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Nkalye nkawulire asula teyeebase
0
SHARES
139
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abamegganyi Miyingo Misach eyafunye obugoba 17 ne Bugembe Nasuru eyafunye obugoba 14 baasuumusiddwa okugenda mu lumeggana oluddirira olw’ekitundu ekyokuna,  ate Muwonge Erick eyafunye obugoba 11 yawanduse.

Biibino ebibuuzo by’entanda nga 05 November,2023.

1. Ba Kabaka ba Buganda babiri abaakisiza omukono mu buwanganguse –  Ssekabaka Muteesa II ne Mwanga II

2. Amannya ga Chansala wa Muteesa I royal University –  Ssaabasajja Kabaka

3. Amakulu g’ekisoko Ekintu okumalako abantu enviiri ku mutwe – Ekintu ekyewuunyisa era nga kiwuniikiriza nga kibi

4. Ani yawandiika ekitabo Kalimagezi Omuzirakisa? –  Fr. FX Mbaziira

5. Nkalye nkawulire asula teyeebase, Olugero olwo lutuyigiriza ki? – Tuyigiriza okubeera abegendereza kubanga ebimu ate biyinza okutuviiramu ebizibu

6. Kabaka bwaba agenda okukuba ekibuga, mutaka ki atema evvuunike? –  Omutaka Namuguzi

7. Omwezi Kabaka mweyakubira Enkamu gumala ennaku mmeka? – 31

8. Omuti oguyitibwa omuvule gusobola okwetegekera ekiseera ekyekyeya, gukikola gutya? –  Guwaatula

9. Mpa ba Kabaka ba Buganda abaava mu Bwabakaba ate oluvannyuma nebabuddako? –  Kabaka Mwanga II ne Kabaka Kiggala

10. Ku lusozi Mengo edda kwabangako ekizimbe edda kyabaayitanga Bulange Plaza, kati kiyitibwa kitya? – Masengere

11. Okuttira omuntu ku liiso, kisoko, kitegeeza ki? –  Okusonyiwa omuntu olw’ensobi gyaba akoze

12. Olugero, lutuyigiriza ki? Kaami katono okanyoonera mitala wa mugga – Obutanyooma mukulembeze yenna olw’endabika ye

13. Omutaka Ssendyona yeyawalanga amaliba g’ensolo abajja ne Kimera zebattanga, Ssendyona yeddira ki? –  Nkerebwe

14. Ommwezi Ssaabasajja Kabaka RM Mutebi II mweyatikkirirwa gumala ennaku mmeka? –  31

15. Omuti gwebayita kibeere, gwetangira gutya abalabe baagwo? – Gubaako amaggwa

16. Waliwo obunyonyi Omuganda bwayita obugugumusi, bwebutya? – Obunyonyi obutono ennyo obutambulira mu kibinja, nga bugugumuka omulundi gumu

17. Mu ba Kabaka ba Buganda mulimu eyali Omujungute, yaani? – Ssekabaka Kalema

18. Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweyali ajaguza emyaka 60 egyobukulubwe Obuganda bwamutonera ki? –  Baamutonera ekizimbe Masengere

19. Ekisoko Okusalirira omuntu olunywa kirina makulu ki? – Okukotoggera omuntu

20. Ani yawandiika ekitabo Obuwoomi bw’ekitontome? – Ssali Damscus

21. Ekyokuyiga ekiri mu lugero, Aweeka atali wuwe aweeka asoosootoka – Tusaana okwegendereza betulekera ebintu byaffe

22. Kika ki ekirina omulimu gwokutema emiti mu lubiri? – Nseenene

23. Omwezi Kabaka Ronald Mutebi Mutebi II mweyazaalirwa gumala ennaku mmeka? 30

24. Mu ddiiro ly’omuganda mulimu ekifo ateenenya kyekiriwa? Ekifo nnyinimu waatuula

25. Abaganda ababeera mu ssasa nga bafukuta ebyuma balina ebigambo byeboogeza omuliro, byebiriwa? –  Salako salako salako

26. Omwezi ogw’okuggulu ogwo nagwo gukula negukaddiwa, omwezi omukadde Omuganda yaguwa linnya ki? Eggabogabo

27. Olugero: Kabaka Nnyondo – Ekussa buzito

28. Omuti oguyitibwa omuwafu guvaako ensigo, ziyitibwa zitya? –  Enje

29. Okufukamiza ensozi kisoko kitegeeza ki? – Okuba n’amaanyi okusinga abalala

30. Omutuba oguyitibwa enteesa ogwawula otya amangu okuva ku mituba emirala?  – Guba n’embuga ngazi

31. Olugero: Baatwaya dda – Abejjereza omunyago

32. Omuganda alina endeku gyayita eyenkooba, eba etya?  –  Endeku entono

33. Mu lulimi oludda ku mmere mulimu ekigambo Essinzi, kitegeeza ki? Ekkobe erigudde wansi nerimera

34. Ekivuga ky’omuganda ekiyitibwa ensaasi kikolebwa mu bintu bibiri eby’ennono, bituwe –  Endeku y’engunda nebateekamu amalanga

35. Omuzizi w’ensolo bwakugamba nti yazize lunywa mazzi aba ategeeza ki?  Nti aba yazize njobe

36. Engeri bbiri omukazi Omuganda zaayinza okumanyiramu nti mu maaso awo ayinza okuzaala abalongo – Okuzaala kasowole oba bwalaba nnamagoye ng’ali lubuto

37. Ekisoko Okubaamu ak’omunku kitegeeza ki? –  Okubaamu n’emize

38. Omuti gwebayita emmimbiri gwetangira gutya abalabe – Gwabutwa gwennyini

39. Engeri bbiri Omuganda mwayita okwejjanjaba ng’akozesa obutonde – Ebikoola ku ttale n’okweyoteza

40. Akawoowo akava mu mmwanyi enfube kaweebwa linnya ki? – Akanyale

41. Olugero: Omukazi akunoba n’atakulaasa

42. Edda essaza Busiro lyafugibwa nga mu nsikirano, ayafunga yaweebwanga linnya ki? –  Mugema

43. Enva ezifumbiddwa mu nkagga Omuganda yaziwa linnya ki? – Ebisoboli

44. Omuddo ogw’entooma gwegufaanana gutya? –  Omuddo ogumera mu luyiira bweguba gukyali muto.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo. K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 
  • FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera
  • Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire
  • President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze
  • Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -