• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Emmotoka eyasookera ddala  mu Buganda yajja – 1909

Eno ye Ntanda: Emmotoka eyasookera ddala mu Buganda yajja – 1909

November 7, 2023
Embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027  ya Trillion 84 eyanjuddwa eri parliament – yeyongedde trillion 12 okuva ku mbalirira ya 2025/2026

Embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027 ya Trillion 84 eyanjuddwa eri parliament – yeyongedde trillion 12 okuva ku mbalirira ya 2025/2026

April 1, 2026
Government etongozza omwezi gwa April 2026 eri abakozi baayo okwanja eby’obugagga byabwe – bakukozesa omutimbagano

Government etongozza omwezi gwa April 2026 eri abakozi baayo okwanja eby’obugagga byabwe – bakukozesa omutimbagano

April 1, 2026
Emmotoka etwala abayizi ku ssomero etegulukuse neyingirira amaka ga ssentebe w’e Kisala mu Bukomansimbi – abayizi bakoseddwa

Abantu 2 bafudde ekiziyiro kya sigiri e Luweero – omulala ali mu mbeera mbi

April 1, 2026
Parliament eyimirizza eby’okuddaabiriza enguudo mu bitundu – sente akawumbi akamu akaweebwa buli district ababaka bagamba nti tebalaba kyezikola

Parliament eyimirizza eby’okuddaabiriza enguudo mu bitundu – sente akawumbi akamu akaweebwa buli district ababaka bagamba nti tebalaba kyezikola

April 1, 2026
Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

April 1, 2026
Kabaka Birthday run 2026 – Aba Uganda Baati, Nalya SS ne East African Medical Vitals bakiise embuga nebagula emijjoozi gya shs bukadde 25

Kabaka Birthday run 2026 – Aba Uganda Baati, Nalya SS ne East African Medical Vitals bakiise embuga nebagula emijjoozi gya shs bukadde 25

March 31, 2026
Uganda ekyalina amafuta agamala wadde nga wakyaliwo okusomoozebwa kw’olutalo lw’e Iran – Government egumizza bannauganda

Uganda ekyalina amafuta agamala wadde nga wakyaliwo okusomoozebwa kw’olutalo lw’e Iran – Government egumizza bannauganda

March 31, 2026
Bannamateeka ba Dr.Kiiza Besigye bawakanyizza enkola ey’okukweka abajjulizi mu musango gw’okulya munsi olukwe

Bannamateeka ba Dr.Kiiza Besigye bawakanyizza enkola ey’okukweka abajjulizi mu musango gw’okulya munsi olukwe

March 31, 2026

Abazadde bagobye omukulu w’e ssomero lya St.Paul primary Naigobya mu district ye Luuka – bamulanga kusuula mutindo gwa ssomero

March 31, 2026
Akakiiko k’ebyokulonda kasabye kooti egobe omusango ogwassibwayo Joanita Nalule ng’awakanya obuwanguzi bwa Joan Namutaawe ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Masaka

Akakiiko k’ebyokulonda kasabye kooti egobe omusango ogwassibwayo Joanita Nalule ng’awakanya obuwanguzi bwa Joan Namutaawe ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Masaka

March 30, 2026
Auto Draft

Senegal yaweebwa dda ensimbi obukadde bwa ddoola ya America 10 olw’okuwangula AFCON 2025 – eby’okuzzaayo ensimbi n’ekikopo birinze kooti esalewo

March 30, 2026
Police efulumizza alipoota ku buzzi bw’emisango ey’omwaka 2025 – bwakendeerako okugerageranya n’emisango egyazzibwa mu 2024

Police efulumizza alipoota ku buzzi bw’emisango ey’omwaka 2025 – bwakendeerako okugerageranya n’emisango egyazzibwa mu 2024

March 30, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Emmotoka eyasookera ddala mu Buganda yajja – 1909

by Namubiru Juliet
November 7, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Emmotoka eyasookera ddala  mu Buganda yajja – 1909
0
SHARES
118
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Program Entanda ya Buganda eri ku lumeggana olw’omutendera ogw’okubiri.

Abamegganyi Kabali Fred eyafunye obugoba 22 ne Kalule Godfrey eyafunye obugoba 17 bayiseewo okweyongerayo ku mutendera oguddako ate Kafeero Paul yawanduse n’obugoba 13.

Biibino ebibuuzo by’Entanda eby’ababuuziddwa nga 06 November,2023.

1. Olugero: Lutumaze –  Enkoko esula ku luwe.

2. Abayizzi balina ekigambo embegoobego, embegoobego kye ki? –  Ensigo z’omusu.

3. Tuwe omwaka ekibuga Kampala mwekyasusibwa okuva e Kampala mukadde okudda e Nakasero – 1905

4. Tuwe obutaka obukulu obw’abekika ky’abaeddira Enkula. –  Lwentugga

5. Tuwe amakulu g’ekisoko Okutuuyana nga bwezikala – Okusoberwa olw’ebizibu ebingi

6. Tuweeyo amakulu g’ekigambo Okuwanga ga mirundi ebiri – Okuwanga ejjembe n’okuwanga enkumbi

7. Tuwe amannya ag’obuntu ag’omwami atwala essaza omusangibwa omuti Nakayima – Luweekula Immaculate Nantaayi Kafeero

8. Tuweeyo omuzizo gumu omukulu ogudda ku ntungo – Tezirimwa mu lubiri

9. Olugero: Ssebugenyi bwansanafu – gwezizinda teyeebaka

10. Mu buyizzi mulimu ekigambo Omubeziibezi, kyeki? –  Omuntu eyetikka ensolo okuva wettiddwa okugituusa webanaagibaagira

11. Bank eyasookera ddala mu Buganda yakolebwa mu mwaka ki? –  1906

12. Tuwe obutaka obukulu obwabekika ky’abeddira Enkusu –  Naminage

13. Ekisoko Okulumika ebisenge kitegeeza ki? –  Omuntu awuliriza ebitamukwatako naddala n’abiwuliriza bbali newankubadde biba tebimukwatako

14. Tuweeyo enjawulo ya mirundi ebiri mu kigambo Ekisibo – Ekifo embuzi mwezisula n’embuzi ennyingi

15. Amannya g’obuntu ag’omwami atwala essaza omuli Ennyumba Muzibwazaalampanga –  Kaggo Ssaalongo Ahmed Magandaazi

16. Ekikolwa ky’abaana abato okuzannyira mu ntungo oluvannyuma lw’okusimba kiweebwa linnya ki? – Okusera entungo.

17. Olugero: Ndwadde ekula kiro.-  y’aziika omuliro

18. Engombe efuuyibwa abayizzi nga bava okuyigga eyitibwa etya? –  Kolokota ensaka.

19. Emmotoka eyasookera ddala wano mu Buganda yajja ddi? – 1909

20. Obutaka obukulu obw’ekika ky’Ababoobi kisangibwa wa? –  Kajuna

21. Ekisoko okutuuza omuntu mu ddagala kitegeeza ki? – Okumulimbalimba ng’olina kyoyagala okumuggyako

22. Tuweeyo amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Okumera, Ekijanjaalo kimera okuva mu ttaka, n’enviira singa ziba zisaliddwa mu mbeera y’okuddamu kuyitibwa okumera

23. Tuwe amannya g’obuntu ag’omwami atwala essaza omusangibwa ekibira Mabira – Ssekiboobo Elijah Boogere

24. Bwosanga omuntu akoola entungo omwebaza nti weekombe, ko ye? – Nti kibya

25. Omuganda tagamba nti akawompo k’omwana kakuba, agamba atya? – Agamba nti kalasa

26. Ekisoko: okugenda okukuuma obuyindiyindi kitegeeza ki? – Kufa

27. Ekkobe eddene obulungi nga linyirivu Omuganda aliyita atya? – Nakatudde

28. Mu mannya g’abamasaza mulimu eryava mu kutumira nti balekere awo okulwana yaani? –  Kkangaawo

29. Olugero: Endwadde y’omukwano – Busobya

30. Tuwe erinnya ly’omukubiriza wa Program Gakuweebwamunno ku cbs 88.8  – Henry Mpinga Ssempijja

31. Akanyonyi k’ennagenze okukwata kantoloseeko omulundi gumu be – Ppulu

32. Ekikolwa ky’okulongoosa ekita mu nda oggyemu ebiryo kiweebwa linnya ki? –  Okulyowa

33. Mutere w’Omuganda ow’ennono aggyibwa mu ki? – Mu mbidde Enganda

34. Olugero: Bwolaba omukulu asoose ekito – Nga taagabe

35. Omukazi bw’afiirwa bba yeesiba n’anywera ekyo kyeyeesiba kiweebwa linnya ki? –  Kibugo

36. Okuwerekera Mpinga mu kibira kisoko, kitegeeza ki – Kwereetera bizibu

37. Kasowole awanuuzibwako ki? – Y’alanga okuzaalibwa kw’abalongo

38. Mu buvubi mulimu ekigambo amabibi, kitegeeza ki? –  Ze mpewo ezikuba nga ziva emabbali

39. Mbuulira erinnya eriweebwa ensolo nga bweba etemya abagibeera okumpi bakuwulira? – Kikami

40. Okunaga kye ki mu byennyambala? – Okwesuulira

41. Olugero: Mbuzi nzadde – tegererwa kisibo

42. Tuweeyo amannya amalala abiri g’oyinza okuwa obulwadde bw’olukusense? – Mulangira ne Oluseru

43. Mu lulimi oludda ku nswa mulimu ekigambo ekikwenda, kyeki? – Enkuyege ento

44. Ani Nnamasole wa ssekabaka Mwanga II –  Nnamasole Abisaaji Baagalayaze

45. Amakulu g’ekigambo entidi ng’okyesigamya ku bintu ebikozesebwa mu maka g’Omuganda –  Ky’ekitanda ky’Omuganda

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027 ya Trillion 84 eyanjuddwa eri parliament – yeyongedde trillion 12 okuva ku mbalirira ya 2025/2026
  • Government etongozza omwezi gwa April 2026 eri abakozi baayo okwanja eby’obugagga byabwe – bakukozesa omutimbagano
  • Abantu 2 bafudde ekiziyiro kya sigiri e Luweero – omulala ali mu mbeera mbi
  • Parliament eyimirizza eby’okuddaabiriza enguudo mu bitundu – sente akawumbi akamu akaweebwa buli district ababaka bagamba nti tebalaba kyezikola
  • Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist