• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Abakadde kabatabaale  – Nga temuli wuwo.

Eno ye Ntanda: Abakadde kabatabaale  – Nga temuli wuwo.

October 26, 2023
Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

April 1, 2026
Kabaka Birthday run 2026 – Aba Uganda Baati, Nalya SS ne East African Medical Vitals bakiise embuga nebagula emijjoozi gya shs bukadde 25

Kabaka Birthday run 2026 – Aba Uganda Baati, Nalya SS ne East African Medical Vitals bakiise embuga nebagula emijjoozi gya shs bukadde 25

March 31, 2026
Uganda ekyalina amafuta agamala wadde nga wakyaliwo okusomoozebwa kw’olutalo lw’e Iran – Government egumizza bannauganda

Uganda ekyalina amafuta agamala wadde nga wakyaliwo okusomoozebwa kw’olutalo lw’e Iran – Government egumizza bannauganda

March 31, 2026
Bannamateeka ba Dr.Kiiza Besigye bawakanyizza enkola ey’okukweka abajjulizi mu musango gw’okulya munsi olukwe

Bannamateeka ba Dr.Kiiza Besigye bawakanyizza enkola ey’okukweka abajjulizi mu musango gw’okulya munsi olukwe

March 31, 2026

Abazadde bagobye omukulu w’e ssomero lya St.Paul primary Naigobya mu district ye Luuka – bamulanga kusuula mutindo gwa ssomero

March 31, 2026
Akakiiko k’ebyokulonda kasabye kooti egobe omusango ogwassibwayo Joanita Nalule ng’awakanya obuwanguzi bwa Joan Namutaawe ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Masaka

Akakiiko k’ebyokulonda kasabye kooti egobe omusango ogwassibwayo Joanita Nalule ng’awakanya obuwanguzi bwa Joan Namutaawe ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Masaka

March 30, 2026
Auto Draft

Senegal yaweebwa dda ensimbi obukadde bwa ddoola ya America 10 olw’okuwangula AFCON 2025 – eby’okuzzaayo ensimbi n’ekikopo birinze kooti esalewo

March 30, 2026
Police efulumizza alipoota ku buzzi bw’emisango ey’omwaka 2025 – bwakendeerako okugerageranya n’emisango egyazzibwa mu 2024

Police efulumizza alipoota ku buzzi bw’emisango ey’omwaka 2025 – bwakendeerako okugerageranya n’emisango egyazzibwa mu 2024

March 30, 2026
Ssaabawandiisi wa CAF, Veron Mosengo-Omba alekulidde

Ssaabawandiisi wa CAF, Veron Mosengo-Omba alekulidde

March 29, 2026
Kings College Budo ejaguzza emyaka 120 okuva weryatandikibwawo – omu ku bawala abaasooka okulisomeramu Norah Namakula Muyinda alina emyaka 104

Kings College Budo ejaguzza emyaka 120 okuva weryatandikibwawo – omu ku bawala abaasooka okulisomeramu Norah Namakula Muyinda alina emyaka 104

March 29, 2026
Okukuza wiiki entukuvu 2026 – abakkiriza basabiddwa okwekuba mu kifuba bakomye ebikolwa eby’okulumya abalala

Okukuza wiiki entukuvu 2026 – abakkiriza basabiddwa okwekuba mu kifuba bakomye ebikolwa eby’okulumya abalala

March 29, 2026
Katikkiro Mayiga alambise ba ssenkulu b’ebitongole bya Buganda mu nkola ya ‘Situla Omutindo’ – babadde mu nsisinkano yabwe eya buli mwaka

Katikkiro Mayiga alambise ba ssenkulu b’ebitongole bya Buganda mu nkola ya ‘Situla Omutindo’ – babadde mu nsisinkano yabwe eya buli mwaka

March 27, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Abakadde kabatabaale  – Nga temuli wuwo.

by Namubiru Juliet
October 26, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Abakadde kabatabaale  – Nga temuli wuwo.
0
SHARES
193
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Mu program Entanda ya Buganda ebumbujjira ku CBS 88.8, eyabaddewo nga 24 October,2023 abamegganyi Zimaze Kalemeera Festo eyafunye obugoba 24 ne Kafeero Steven eyafunye obugoba 21 bebaayiseewo okweyongerayo mu lumeggana oluddako, ate Kamoga Kasajjakaaliwano eyafunye obugoba 19, yawanduse.

Bino by’ebibuuzo by’ Entanda.
1. Ku ggaali kuliko ekitundu ekiyitibwa ffuluweero, erinnya eryo liva mu kigambo ki ekizungu? – Free Wheel.

2. Abaganda balina enva baziyita “mufu” zeziriwa? –  Bwebutiko obubaala obutannakuulwa (okuggyibwa)

3. Tuweeyo omuzizo gumu ogwekuusa ku ttabo ly’ekiswa –  Ettabo terisongwamu lunwe.

4. Tuweeyo erinnya eddala eriweebwa Ssekiboobo? –  Mboobo.
5. Olugero: Abakulu n’abakulu tebaseerana mukubi –  Nga za munnyo.

6. Tuwe erinnya ly’omusajja eyawasa Nnamasole Irene Drisila Nnamaganda –  Rev Peter Kigozi.

7. Tuwe amannya asatu aga Kyabazinga wa Busoga aliko kati – Isebantu William Wilberforce Gabula Nadiope IV.

8. Munnamusa y’Abaganda mubaamu ekigambo Eradde, ekigambo ekyo kitegeeza ki? – Kitegeeza Emirembe.

9. Ku ggaali kuliko ekitundu ekiyitibwa ekkaliya, ekigambo ekyo kiva mu kigambo ki ekizungu? –  Carrier.

10. Abaganda balina enva zebayita ebikunta by’ensiri, zeziriwa?  – Ebisoobooza.

11. Abassi b’enswa ensejjere balina ekigambo kamukungube, kitegeeza ki? – Ekiswa ekiri mu bbanga nga tekiriiko kantu konna.

12. Waliwo essaza eriyitibwa Mukuumabalangira, tuwe erinnya ery’ennono ery’omwami atwala essaza eryo – Kasujju.

13. Olugero: Omugenyi akkuse – y’alaba nnyinimu ebyenda.

14. Kitaawe wa Nnamasole eyaddamu okufumbirwa –  Rev Yonasani Kayizzi.

15. Erinnya lya Omukama wa Tooro aliko kati –  Oyo Nyimba Kabamba Lukidi IV.

16. Tuweeyo emirundi ebiri okulamusa lwekutakkirizibwa mu Buganda –  Omuntu agenda okuzuuka enswa talamusa, Omukazi eyetisse enku talamusa, Aggya obutiko talamusa.

17. Ku ggaali kuliko akasottebwa era kuliko ekitundu ekiyitibwa mandi gaadi, kiva mu kigambo ki? – Mud guard.

18. Abaganda balina enva zebayita mmokoti, enva ezo zeziriwa? – Enva z’empindi (ebibala byazo).

19. Olwataata kigambo ekyekuusa ku mulimu gw’okutta enswa ensejjere, kitegeeza ki? – Eriiso ly’enswa ensejjere.

20. Erinnya ettongole ery’omwami wa Kabaka alamula essaza Buddu.-  Ppookino.

21. Olugero: Abakadde kabatabaale  – Nga temuli wuwo.

22. Waliwo Katikkiro eyalekulira obwami,  olwa nnamasole okuddamu okufumbirwa, yaani? – Martin Ruther Nsibirwa.

23. Tuwe erinnya ly’ Omusinga w’Obusinga bwa Rwenzururu. – Irimengoma Charles Wesely Mumbere.

24. Mu nnamusa y’Abganda ey’ennono mulimu ekigambo Bwera, kitegeeza ki? – Nti gyova Mirembe?

25. Ekkovu nebweriyita ku lwazi lirekawo obulambe, ekyo kyerireka kiweebwa linnya ki? – Akalindi.

26. Okuwuuya kyeki? – Okubuzaawo omuntu n’abulira ddala.

27. Omuganda bwagamba nti omukolo gwabadde nnandekererwa, olwo aba ategeeza ki? – Omukolo ogubeera omulungi ennyo naye abantu nebagwesamba mangu nebaguvaako nga tegunnaggwa.

28. Ssinga omuganda asanga ekitooke kye nga kyetuze akola ki?  –  Engo eyo agisuula mu masanganzira.

29. Olugero: Gatutabye – tatta wa ggwanga.

30. Tuweeyo engeri bbiri Omuganda mwayita okutangira endwadde ng’ayita mu nnono –  Yeegendereza ebiyinza okuvaako okufuna endwadde , okuba omuyonjo

31. Kigambo ki ekirala kyoyinza okukozesa okutegeeza okusaanuusa ekyuma? –  Okukulukusa ekyuma.

32. Obumbowa bwa Kaawonawo bwatandika ku mulembe ki? – Muteesa I.

33. Newankubadde nga tugamba nti ebinyeebwa tubisiika nga tukozesa oluggyo naye ekigambo okusiika sikituufu, ekituufu kyekiriwa?  – Okukalanga.

34. Abaganda emmwanyi bazisiika ku luggyo, lwaki? –  Okufunamu akawoowo n’okukala obulungi kigisobozese okusekulwa obulungi.

35. Olugero: Ewaffe zirya ngugo – akuddiza maliba.

36. Omumbejja Kabaka gwasooka okuzaala amutuuma linnya ki? – Nnassolo.

37. Ssaza ki omusangibwa olusozi Rwenzori? –  Teririiyo.

38. Ekisoko kino kitegeeza ki? Okuyita omuntu ku litalaba – Okubuzaabuza omuntu n’omubba.

39. Omwezi Mutunda gumala ennaku mmeka? –  30.

40. Entebe Nnamulondo yatandika ku mulembe ki? –  Gwa Kabaka Mulondo.

41. Olugero: Emmeeme y’omutambuze – eruma madda.

42. Emigaso ebiri egiteekesaawo lubuga –   Okusikira ekitanyi n’okufumba emmere ey’omuzizo.

43. Embeera z’amirundi ebiri mwetuyinza okukozesa ekigambo Okulega  – Okulega ku mwenge n’okulega ku mutuba.

44. Oluwonzi lwa Ngaali luweebwa linnya ki eddala? –  Ssule.
45. Tuwe amannya abiri agayinza okuweebwa eryato eriweebwa eryato erisimwa obusimwi – Emmanvu oba omulandira.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa
  • Kabaka Birthday run 2026 – Aba Uganda Baati, Nalya SS ne East African Medical Vitals bakiise embuga nebagula emijjoozi gya shs bukadde 25
  • Uganda ekyalina amafuta agamala wadde nga wakyaliwo okusomoozebwa kw’olutalo lw’e Iran – Government egumizza bannauganda
  • Bannamateeka ba Dr.Kiiza Besigye bawakanyizza enkola ey’okukweka abajjulizi mu musango gw’okulya munsi olukwe
  • Abazadde bagobye omukulu w’e ssomero lya St.Paul primary Naigobya mu district ye Luuka – bamulanga kusuula mutindo gwa ssomero

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist