Program Entanda ya Buganda eya 15 November, 2024 ku 88.8 ne CBS FM UG ku Youtube, yabadde muliro muliro, Omumegganyi Ssemyalo Herbert yawandukidde mu maanyi n’obugoba 20 antiMale John Kawuma yamusinzi n’akagoba kamu kokka, ye yafunye 21 olwo ye Male ne Kalyango Faruk eyafunye obugoba 26 nebasuumusibwa.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Mu ba Kabaka ba Buganda Ssekabaka Daudi Cchwa II yeyasookera ddala okulambulako mu nsi za Bulaaya, yamalayo bbanga ki? ………Emyezi etaano.
2. Olugero: Lubaale maliba…….. Buli omu alyambala bubwe.i
3. Omwana omuto anywa ddi emmindi okusinziira ku kuwanuuza kw’Abaganda? ………Bwaba anuuna ekigalo.
4. Olubuuya kye ki?……………… Ebyennyanja ebikaziddwa omusana.
5. Akatiko akamera mu ggwatiro kaweebwa linnya ki?………………. Nnakifanjagala.
6. Omuntu ayinza okupaatiikibwako erinnya eririmu ekigambo nswa, kikolwa ddi era omuntu oyo aba atya? Nswazaluguudo,……………………. Omukyala eyeegalabanja.
7. Amakulu g’ekisoko. Okutunula omuntu mu mutwe………………….. Kumunyooma.
8. Erinnya lya Nnamasole wa Kabaka eyagenda e Bwayi?……………………… Baagalaayaze.
9. Kojja wa Kabaka ayitibwa Masimbi, erinnya Masimbi lirina makulu ki? ………….Wa muwendo ng’ensimbi.
10. Olugero: Wootonnava………………. Toyonoona mu kisulo.
11. Ddi omwana lweyeeriisa enkuuli?……………… Bwaba atandiikiriza okuyiga okulya n’aliira engalo wezitandikira.
12. Ekigambo amakayabu kitegeeza ki? ……………….Ekyennyanja ekiziddwa mu munnyo.
13. Enjawulo mu bigambo Okwaya n’okwayira. …………………..Okwayira kutwalira nsolo byakulya ate okwaya kyekiseera abatabaazi webaba banoonyeza eby’okulya.
14. Akatiko Omuganda kaatafumba wabula akassa mu kitole ky’ettooke nekajjiira omwo………….Akassukussuku.
15. Ekisoko Okugwa mu mboozi………………… Okweyingiza mu mboozi y’abali nga ate tebakwetaagamu.
16. Erinnya lya Nnamasole wa Kabaka eyassaawo empisa y’omuko n’omukadde amuzaalira omukyala buli omu okudduka munne? ………………….Nnamulondo.
17. Lwaki muka kojjaawo omuyita jjajja? ………………Kubanga abaana baazaala mbayita maama.
18. Olugero: Kyewajja okulaba okyekkaanya………….. Omunya gwekkaanya munyale.
19. Omwana ayonka ng’agalabanja emmere, kino kibaawo ddi?…………. Ayonka tafaayo nnyo.
20. Ekigambo mwolo kitegeeza ki mu balunnyanja? …………….Ekiseera ebyennyanja webibeerera ebitono mu nnyanja.
21. Akatiko akamere webasogolera omubisi kaweebwa linnya ki?……………… Nnassogolero.
22. Amakulu g’ekigambo Embuutu………………. Engoma ezikubwa ku mukolo gwessanyu n’ekitu okutemerwa ennyama mu bbuca.
23. Ekisoko. Okukwata omuntu nabyo………………… Okugwikiriza omuntu ng’akwogerako.
24. Nnamasole eyawera abantube okukyamira ku kibuga………………… Kannyange
25. Okuba omutaka w’e Namataba kisoko, yaani? ……………..Mulindwa.
26. Ebisolo bibiri kwebajja maliba gebazinisa amazina amaganda………… Embuzi ya zigeye n’engeye.
27. Mu nnono buli muntu aba n’amaanyi amatonde agamulungamya, omuganda agayita atya? …………Kalondoozi.
28. Ekisolo ekiba n’amaggwa ku ddiba lyakyo……………… Nnamunnungu.
29. Olugero: Tovumirira egwa wala… ………..Bwezza emmere osakirayo.
30. Eriiso ly’ekiswa terisongwamu lunwe, lisongwamu ki?………… Kinoko.
31. Program Entanda ya Buganda yatandika mu mwaka ki? ………..2003.
32. Kabaka alina amannya mangi agooleka ekitiibwakye, nga Ccuucu, erinnya eryo liggwayo litya? ……..Ccuucu olusubi olusajja nnantasiba muge.
33. Mukazi w’Omulangira ayitibwa muzaana, ssinga bba w’Omuzaana oyo afa, ayitibwa linnya ki? ……..Asigala ayitibwa Muzaana.
34. Olugero: Akulabira mu masanganzira…. Akuyita muyise.
35. Erinnya egganda eriva mu lugero nga lifaana n’erya Bayibuli, linnya ki? ………….Lukka.
36. Akabonero ka Uganda kaliko ensolo, ensolo eyo erina bukulu ki?…….. Kutegeeza nti eggwanga lijjudde eby’obulambuzi.
37. Erinnya Kiweewa lirina bukulu ki mu Balangira ba Buganda?…………. Liweebwa omwana omulenzi Kabaka gwasoose okuzaala.
38. Olusaka lwa Nnamasole wa Ssekabaka Mwanga II lusangibwa mu ssaza ki?…………. Kyaddondo.
39. Omusajja bwabeera n’obulago, olwo omukazi n’abeera naki? ………….Nsingobiseera.
40. Okufa kw’Omulangira Omugadanda akuyita atya?………….. Okuzaama.
41. Tuweeyo ekigambo ekirala nga kitegeeza langi ya bbululu……………. Kaniki.
42. Buli muganda aba n’amaanyi ag’obutonde agatalabika, Ani atembeeta amaanyi ago? ……….Omulongo w’omuntu oyo.
43. Tandika olugero: Kakira omukwano…………… Akaganda akatono.
44. Essaza lya Buganda mwebatandise okunnyikiza obulimi bwa ppamba, lyeririwa……… Mawokota.
45. Olusaka lwa Nnamasole wa Ssekabaka Daudi Cchwa II lusangibwa ku kyalo ki? ……..Kanyanya.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.