Enteekateeka y’Enkuuka Bwaguuga egyiddwako akawuuwo, wakati mu kuyisa ebivvulu okwetoloola obutale n’ebitundu ebyenjawulo mu Kampala.

Enkuuka yakubaawo nga 31 December,mu Lubiri e Mengo, era ng’eteekeddwamu ebinnonnoggo ebyenjawulo ebimalako omwaka 2025 ate bikuyiingize omuggya 2026.

Abavujjirizi abenjawulo basuubizza obuweereza obw’ekimmemmette.

Augustine Lule Ku lw’abavujirizi abakulu Abe Nkuuka Bwaguuga aba MTN Uganda, ategezeezza nti Ku lwenkuuka bwaguuga nabo bataddewo Enkuuka Special Bundle, buli ajigula agenda Kufuna eddakiika 35 okukuba ku mikutu gyonna, era ng`egenda kuba egulibwa Shillings 1000 zokka.
Enkuuka Bwaguuga etegekebwa CBS FM ng’eyambibwako MTN Uganda, MTN MoMo, Operation Wealth Creation, Nature Creates.

Enkuuka Bwaguuga ewagiddwa MOVIT Products, Pepsi, BBS Terefayina, Nile Breweries – ey’ekyokunywa kya Eagle.
Ssaak Events ne UTrax bebateekateeka.
Byotasaanye kusubwa mu Nkuuka Bwaguuga;
Abayimbi, abazannyi ba Katemba, Ababonga zi ddigi zi Bwaguugwa, saako aba bodaboda abanaavuganya ku birabo ebyenjawulo, abanaayingira mu Nkuuka nabo bakwewangulira ebirabo ebyenjawulo omuli ensimbi enkalu, pikipiki Bwaguuga, Tv zi Bwaguuga, Fridge Zi bwaguuga n’ebirabo ebirala bingi.

Ebirala ebyongeddwa munkuuka y`Omwaka guno kyekigo ekizungu ekimanyiddwa nga Wrestling kasooto n’obugaali bu maanyi ga kifuba.


Okuyingira mu Nkuuka shs omutwalo gumu gwokka (shs 10,000), kunyumirwa, kuwangula, n’okuyiga mu Ntanda ya Buganda, omunaava Omuzira mu Bazira wa 2025.#












