Enkuba ekedde okutonnya nga 26 March,2025 Wednesday, mu Kampala n’emiriraano esannyalazza emirimu, emyala gibooze,amataba ganjadde mu business z’abantu, amasomero agamu gajjuddemu amazzi, enguudo ezimu tezikyayitikamu, nga n’emmotoka zikwamidde mu mazzi.

Ebifo ebisiinze okukosebwa kuliko Nateete, Nalukolongo, Banda,Kyambogo,Bweyogerere, Bwayise, Kalerwe, Namuwongo, Mukwano road, Lugogo, Queen’s way, Kosovo, Gangu n’awalala.