• Latest
  • Trending
  • All
Emyaka 40 nga NRM ekulembera Uganda – ewabuddwa etereeze ebisobye

Emyaka 40 nga NRM ekulembera Uganda – ewabuddwa etereeze ebisobye

January 26, 2026
Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi

Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi

February 16, 2026
Police ekutte abantu 5 abateeberezebwa okubbisa emmundu – kigambibwa beebatta eyali ekulira police e Ntaawo Mukono

Police eyigga Taata agambibwa okutta omuvubuka gw’asanze ne muwala we ku lunaku lw’abagalana e Matugga

February 16, 2026

Abatendesi ba KCCA FC baweereddwa nsalesale wa mipiira 3 – bwegibalema okuwangula boolekedde okugobwa

February 16, 2026
Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa

Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa

February 16, 2026
Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

February 14, 2026
Katikkiro alabudde abalowooza nti omukwano nsimbi – abadde ku mukolo gw’omwami Andrew Francis Luyombo n’omuk.Solomy Nassejje nga bajaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

Katikkiro alabudde abalowooza nti omukwano nsimbi – abadde ku mukolo gw’omwami Andrew Francis Luyombo n’omuk.Solomy Nassejje nga bajaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

February 14, 2026
Abayizi ebitundu 99.7% baayise ebigezo bya S.4 ebya UNEB 2025

Abayizi ebitundu 99.7% baayise ebigezo bya S.4 ebya UNEB 2025

February 13, 2026
Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo ebirabo eri ebitongole byabwo ebyasiinga okukola obulungi emirimu mu 2025 – CBS eweereddwa ekirabo ekisukkulumye

Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo ebirabo eri ebitongole byabwo ebyasiinga okukola obulungi emirimu mu 2025 – CBS eweereddwa ekirabo ekisukkulumye

February 12, 2026

Okusunsula abayizi abagenda okusoma S.1 kutandise – minister Muyingo alabudde amasomero agatunda ebifo

February 12, 2026
Brig.Gen. Jackson Pande Kajuba alondeddwa okuduumira enkambi ye Kasijjagirwa – azze mu bigere bya Brig.Gen.Deus Sande eyafudde ekibwatukira

Brig.Gen. Jackson Pande Kajuba alondeddwa okuduumira enkambi ye Kasijjagirwa – azze mu bigere bya Brig.Gen.Deus Sande eyafudde ekibwatukira

February 12, 2026

General Court Martial resumes Work after a one year Suspension

February 12, 2026
Abaali abakozi b’ekitongole ki Uganda Posta and Telecommunications Corporation ekyasattululwa mu 1997 –  bakyabanja government

Abaali abakozi b’ekitongole ki Uganda Posta and Telecommunications Corporation ekyasattululwa mu 1997 – bakyabanja government

February 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Nature

Emyaka 40 nga NRM ekulembera Uganda – ewabuddwa etereeze ebisobye

by Namubiru Juliet
January 26, 2026
in Nature
0 0
0
Emyaka 40 nga NRM ekulembera Uganda – ewabuddwa etereeze ebisobye
0
SHARES
50
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Olwa leero 26 January,2026 giweze emyaka 40 beddu, bukyanga ggye lya National Resistance Army  liwamba obuyiinza bw’okukulembera Uganda oluvannyuma lw’olutalo olwamala emyaka 5, kati eryeyubula nerivaamu ekibiina ki National Resistance Movement.

Mu myaka gino 40 olunaku luno olwakazibwako Olw’ameenunula okuva mu government ezaaliko, lukuzibwa buli mwaka okujjukira abantu abaakulemberamu olutalo luno, abaafirwa ebyabwe n’abantu babwe mu lutalo, saako n’okujaguza ebituukiddwako.

Emikolo emikulu egy’omwaka guno giyindira mu kisaawe e Kololo.

Nga NRM ejaguza emyaka gino 40, yenyumiriza mu  kuleeta emirembe n’okunyweza ebyokwerinda by’eggwanga,  okutumbula ebyenfuna ng’eyita mu nteekateeka y’Emyooga, Parish Development Model n’ebirala.

Minister we ensonga zobwa President Milly Babalanda agambye nti waliwo abantu 33 abagenda okusiimibwa n’okuweebwa emidaali egyatuumibwa  Nalubaale, n’emirala, olw’ebyo byebakoledde e ggwanga ate nga birabwako, era ng’emidaali gino baatandika okugigabirako n’ensimbi enkalu.

Abamu ku baalwana ku lutalo olwaleeta NRM mu buyiinza, bawabudde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa era nga yabadde mu ntebe okuva lw’ebakwata obuyiinza, nti okuddamu yetegereza ensonga zebaalambika nga balwaana okukwata obuyinza.

Yoweri Kaguta   Museveni   mu 1981 yeyakulemberemu ekibinja ky’abayeekera ekya NRA   nebalwana olutalo lw’ekiyeekera okutuusa bwebawamba obuyinza nga 26 January,  1986  natandika okukulembera Uganda n’okutuusa kati lweyalondeddwa ku kisanja ekyo 7.

Hajji Abdul Nadduli omu kubaalwana olutalo lw’ekiyeekera, awabudde abakulu okusooka okuddamu okutuula betegereze ensonga zebaasimbako essira nga banoonya obuyinza , nga kino kyakubayamba okwekubamu tooki okutereeza ebisobye mu  myaka gino 40.

Hajji Nadduli agambye nti kikyamu NRM amaanyi okugamalira mu kalulu, ate netafaayo kutereeza ebisobu ebigenda nga binafuya bannansi.

Agambye nti kye kiseera abakwatibwako ensonga mu NRM batuule bekubemu ttooci mu bulambulukufu, bakole ku bintu ezikosa abantu ba babulijjo, mu kifo ky’okwemalira mu kukola ebintu ebigasa abantu ab’olubatu ate abakulu mu government abalina era abasobola okwetusaako buli kimu.

Wabula Amyuka Ssaabawandiisi wa NRM Rose Namayanja Nsereko ategezezza  nti mu bingi ebituukiddwa mu myaka egiyise, naddala mu kitundu ekya Luweero olutalo gyerwasiimba amakanda, mulimu okuzimba Amakolero agawadde abantu emirimu.

Agambye mu birala ebikoleddwa era ebyenyumirizibwamu kwekusitula ebyenfuna by’eggwanga, okunyweza ebyokwerinda n’ebirala, era nategeeza nti waliwo n’enteekateeka endala nnyingi zebasuubira okukolako okukulaakulanya eggwanga.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi
  • Police eyigga Taata agambibwa okutta omuvubuka gw’asanze ne muwala we ku lunaku lw’abagalana e Matugga
  • Abatendesi ba KCCA FC baweereddwa nsalesale wa mipiira 3 – bwegibalema okuwangula boolekedde okugobwa
  • Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa
  • Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist