Emikolo gy’okukuza Empango y’Omukama Rukirabashaija Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV ey’emyaka 30 ng’alamula Obukama bwa Tooro gikuziddwa mu lubiri lw’e Karuziika mu kibuga Fortportal.
Hangiriza Agutamba! Hangiriza Omusakaazi Atanaga njura!

Omukama Oyo ye Mukama wa Tooro ow’omulundi ogwe 12.
Yatuuzibwa ku ntebe ya Tooro nga wa myaka 3 n’ekitundu gyokka, ng’asikira kitaawe OmukamaPatrick Mathew Olimi II.

Emikolo gikulembeddwamu emikolo emirala egiggumiza obuwangwa n’ennono obutambulira ku Mpango.
Wabaddewo n’okusaba okwenjawulo, okwetabiddwamu bannaddiini ab’enzikiriza ez’enjawulo.

Sipiika wa parliament Anitah Annet Among ye mugenyi ow’enjawulo ku mikolo gy’eEmpango egy’omulundi ogwa 30.













