Ekizikiza kibuutikidde ensi okumala ebbanga lya ssaawa emu n’eddakiika 22, ssengendo Ssensi bwesiikirizza omwezi, neguba nga tegukyafuna kitaangaala okuva ku njuba ( ekimanyiddwa nga Enjuba okulwana n’omwezi).
Omwezi gutandise mpola okugenda nga gubuutikirwa ekisiikirize okutuusa gwonna bwegukyetoolodde , olwo ekizikiza eky’amaanyi nekikwatirira obwengula.

Ekitongole kya America ekitangaaza obwengula ekya NASA kitegeezezza nti embeera eno eyitibwa Lunar Eclipse ebadde eyotebwa buliro, ku ssemazinga okuli Africa,Europe,Asia ne Australia.
Mu Uganda abantu abasinga batandise okulaba omwezi nga gulwana n’enjuba mu ssaawa bbiri ez’ekiro kya nga 07 September,2025.
Abekenneenya Obwengula bateebereza nti embeera eno yandiddamu okulabwako mu mwezi gwa August,2026.#
Ebifaananyi: bya Diana Kibuuka












