Wano mu Buganda, ebinyonyi eby’enjawulo miziro era byenyumirizibwamu nnyo.
Waliwo abeddira Ngaali, Nakisinge, Kunguvvu, Ennyange n’ Ennyonyi Endiisa , era ky’abuvunanyizibwa omuntu okumanya ebitwata ki kika kye ate assobole okukikuuma, naddala mukaseera kano ng’obutonde bw’ensi butokomoka.
Singa obutonde tebukuumibwa, ebika ebimu byolekedde okufuuka olufumo.
Ekinyonyi ngaali kekabonero k’eggwanga, era musango okukusanga ng’osse ekinyonyi ekyo, oba okukikwata okukitunda.
Ebibira, entobazi n’embalama z’ennyanja by’ebifo ebisinga okuwangaaliramu ebinnyonyi ebyenjawulo.
Ng’oggyeko ebinyonyi bino okuba emiziro,era byabulambuzi.
Abalala babifunako eddagala, abandi babirya, n’okubifunamu ensimbi ezigaggawaza.
Mu kisaawe ky’ebyobulambuzi okulambula n’okulaba ebinyonyi mu Lungereza kiyitibwa ‘Birding’, ky’ekimu ku bintu ebikolebwa abalambuzi era nga Uganda enogera ddala ensimbi eziwera ku mu kulaba ebinyonyi .
Ebinnyonyi bino mulimu ebinene ddala nga Bbulwe ne Kalooli, n’ebunyonyi obutono ddala nga Obunuuna nsubi, Obutaayi , Endegeya n’ebirala.
Okusinziira ku Emmanuel Mukisa omusomesa b’obutonde bw’ensi ate nga mukugu mu binyonyi ku Uganda Wildlife Conservation Education Cemter (UWEC) bangi gyetumanyi nga Zoo e Ntebe, agamba nti omutunuulira ebinyonyi kiwummuza ebirowoozo, ate nga mukaseera keekamu wabaawo okuyiga kungi.
Mukisa agamba nti enneyisa y’ebinyonyi n’enkula yaabyo ennyuma okulaba.
Mukisa anyonyola nti ebinyonyi by’awulwamu emirundi ebiri, ebiwangaalira mu bibira , saako n’ebinyonyi eby’okumazzi, era wano wewava entandikwa y’omuntu okutandika okumanya n’okunyumirwa ebifa ku binyonyi, n’okufaayo okubikuuma.
Endabika y’ekinyonyi, okuli obunene bwakyo, langi yakyo , enkula y’omumwa , eky’ensuti , saako n’ebigere kikulu nnyo mukutegeera ekika ky’ekinyonyi omuntu ky’aba alabye .
Amaloboozi gabyo n’ebika kyebisusunku mwebisula nabyo binyuma okutunulako.
Wano ssemazinga Africa,Uganda yaamukisa okuba nti yeemu kunsi erina ekinyonyi ekisinza ekisusunku ekinene era nga ekinyonyi kino kiyitibwa Naddibanga.
Mukisa annyonyola nti mu kaweefube mukusomesa abantu obutonde obukwata ku binyonyi, basaawo olunaku n’esaawa abantu ba bulijjo webasobola okubegattako mu Zoo e Ntebe okulaba n’okuyiga ebikwata mu binnyonyi ebyenjawulo.
Buli lwakutaano saawa emu ey’okumakya kuba kalaba na kuwuliriza amaloboozi g’ebinyonyi ebyenjawulo.
Mu kkuumiro ly’ebisolo n’ebinyonyi ebyomuttale eryea Uganda Wildlife Conservation Education Cemter (UWEC) bangi gyetumanyi nga Zoo e Ntebe, waliwo ebika by’ebinyonyi ebisukka mu 250.
Okusinziira ku kitongole kya Birdlife International, ensi yonna eteeberezebwa okubaamu ebika by’ebinyonyi ebiri wakati wa 9,700 ne 11,000.
Okunoonyereza kwalaga nti ebika by’ebinyonyi 1,481 byebyoleekedde okusaanawo, olw’okusaanyizibwamu kw’obutonde bwensi mwebiwangaalira, n’abantu okubiyigga babifunemu ensimbi.
Ebika bye binyonyi 159 bbyo bigambibwa okuba nti byasaanyirawo ddala munsi yonna.
Okutwalira awamu mu nsi yonna muteeberezebwa okubaamu omuwendo gw’ebinyonyi ebiri eyo mu buwumbi 430, wabula ng’ebika ebimu bingi nnyo ate ebirala bitono ddala olw’enkula n’embeera mwebibeera.