Ebimu ku bibumbe by’emiziro gyébika by’abaganda ebisangibwa ku luguudo Kabakanjagala e Mengo mu gombolola ye Lubaga.
Buli kika kirina ekibanja kyakyo omwassibwa ekibumbe ky’omuziro gwakyo.
Buli kibumbe kyassibwako erinnya ly’omuziro, akabbiro, omutaka w’ekika n’omubala gw’ekika ekyo.