Eyali president wa FDC nga kati y’omu ku bakulembeze b’ekiwayi kya Katonga road Rtd. Dr.Kiiza Besigye asimbiddwa mu kooti y’amagye e Makindye, naggulibwako emisango 4 gy’okugezaako okusekeeterera government n’okutabangula emirembe.
Kiiza Besigye abadde yasemba okulabwako nga 16 November,2024 ng’agenze e Nairobi mu Kenya, okwetaba ku mukolo gw’okutongoza akatabo keeyaliko minister wa Kenya Martha Karua, wabula nabuzibwawo okumala ennaku 3 era ng’abadde tamanyiddwako mayitire.
Besigye aleeteddwa ne hajji Obed Lutale omutuuze we Mutundwe mu kooti essaawa nga zikunukkiriza okuwera essaawa omusanvu ez’emisana ga 21 November,2024, nebasimbibwa mu maaso ga kooti eno ekulirwa Brig.Freeman Mugabe.
Besigye asabye akkirizibwe yewolereze nti kubanga abadde tanayogerako ne bannamateeka be okubabuulira ekyabaddewo, era n’agaana okumuwa bannamateeka ba government.
Brig.Mugabe asazeewo okuyimiriza kooti okumala ebbanga lya ddaakiika 15.
Kooti bwezzeemu okutuula wakati mu kooti ebadde ejjudde abawagizi be, ab’oluganda n’amagye, Besigye ne munne basomeddwa emisango egyekuusa kukutabangula emirembe mu Uganda.
Omuwaabi wa kooti Raphael Mugisha agambye nti ababiri bano nga basinziira mu kibuga Geneva ekya Switzerland ne mu Athens akya Greece wakati wa October 2023 ne November,2024 baatuuza enkiiko ez’enjawulo nga bagezaako okuperereza eby’okulwanyisa, era nti ne ku lunaku lwebaakwatibwa mu Riverside apartments nga 16 November,2024 mu kibuga Nairobi ekya Kenya baali ku mupango gwe gumu.
Bavunaaniddwa n’okusangibwa n’emmundu ekika kya Pistol 2 ne magaziini z’amasasi 8, so nga eby’okulwanyisa birina kubeera na bakuuma ddembe.
Besigye ne munne emisango bagyegaanye, era ne munnamateeka wabwe Ssalongo Erias Lukwago n’asaba omulamuzi wa kooti y’amagye okugoba omusango guno nti tebalina musango gwonna gwebazizza mu Uganda, era nti obuyinza bwa kooti eno tebutuuka mu Kenya.
Lukwago agambye nti abantu be baayita mu makubo matuufu okuyingira e Kenya era ebiwandiiko biraga nti bakyali mu Kenya, n’olwekyo eky’okubawamba nebakomezebwawo mu Uganda nga tebayise mu makubo matuufu, kibeera kimenya mateeka.
Wano Lukwago wasabidde omulamuzi nti emisango egibagguddwak gigobebwe.
Wabula Omulamuzi abasindise ku alimanda mu komera e Luzira okutuusa nga 02 December,2024, lwebanadda mu kooti lwenasalawo ekiddako.
Kooti eno yeemu yali evunaanyeeko Rtd.Col.Dr. Kiiza Besigye mu mwaka 2006, lweyaggulwawo emisango 4 egyekuusa kukusekeeterera eggwanga, wabula oluvannyuma negigobwa.