Omuliro ogutanakakasibwa kweguvudde gwokezza ekifo ekisanyukirwamu ekya Club Ambiance ettabi lye Masaka City.
Omuliro guno gutandise ku ssaawa nga munaana ez’ekiro.
Kigambibwa nti omuliro gutandikidde mu biwujjo ebikuba empewo eweweeza Club, negukwata effumbiro negusaasaanira ekitundu ky’ekizimbe.
Abamu ku bakozi mu Ckub Ambiance okuli Ssalongo Benard Kagolo, Hadard Yiga n’abalala bagambanto wandiba nga waliwo omuntu ow’ettima ayokezza emmaali n’okwonoona emirimu gyabwe.
Omwogezi wa police e Masaka Kasirye Twaha agambye nti byebaakafunawo biraga nti omuliro guno gwandiba nga guvudde ku masannyalaze, wabula nga bakyayongera okwetegereza bakole alipoota enzijuvu.#