Kibadde kijobi kyenyini nga Program Entanda ya Buganda nantaggwa buwoomi etongozebwa mu ngeri eyenjawulo olwaleero nga 18 Museenene,2025, ku kitebe kya Kkampuni y'essimu eya MTN, era nga banno bebavujirizi Abakulu...
Kkooti ewulira emisango gy’ensonga z'abakozi emanyiddwa nga Industrial Court of Uganda egobye omusango ogwawabwayo eyali omukozi wa CBS Yusuf Baliruno, ng'abadde alumiriza nti yawummuzibwa ku mulimu mu bumenyi bw’amateeka. Abalamuzi...
Kabaka Daudi Chwa, yeyakisa omukono nga 22 November,1939. Ssekabaka Daudi Chwa ye yali Kabaka wa Buganda owa 34. Yalamula Obuganda wakati wa 1897 ne 1939 mweyakisiza omukono. Entanda ya Buganda...
Abawanguzi mu kazannyo ka Radio ya Kabaka CBS Bbingwa wa Mabingwa 2025 baweereddwa ebirabo ssemalabo byebawangula mu mpaka zino, mwebeebalizza CBS okutumbula ebitone nÓkumanya mu kisaawe kyÉbyemizanyo nÉmpuliziganya. Abakwaasiddwa...
Eyali omukozi wa CBS Jumah Kagolo Mayanja, eyali omusomi w'ebirango aziikiddwa ku kyalo Kkonko mu Kyaggwe, mu district eye Buikwe nga 21 October,2025. Okuziika kwetabyeko ebikuminebikumi by'abakungubazi, wakati mu nnamutikkwa...