Government kyaddaaki emaliririzza okuddabiriza olutindo lwa Karuma,era nge lugguddwawo olwaleero nga 20 December,2024. Olutindo luno lumaze emyezi 3 nga luddaabirizibwa Minister w'ebyentambula n'enguudo Gen Edward Katumba Wamala agambye nti bakkirizzaako...
Government eyanjudde ennongosereza mu tteeka erifuga amaggye erya UPDF Act 2005, okubaako byetereeza mu ggye ly'eggwanga okutuukagana n'omulembe n'enkyukakyuka ezizze zibaawo mu maggye Mu nnongosereza zino government zeyanjulidde parliament okuyita...
Nnabbambula w'omuliro akutte emmaali y'abasuubuzi mu kitundu ekimannyiddwa nga ku Bbiri e Wandegeya mu muluka gwa Makerere I mu division ye Kawempe. Emmotoka ezisoba mu 10 ziyidde saako ne business...
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa atadde omukono ku mabago g'amateeka 9 negafuuka amateeka agalindiridde okutandika okussibwa mu nkola. Kuliko etteeka eriggyewo obuvunanyizibwa bw'ekitongole ky'ebyenguudo ekya Uganda National Roads...
Abakungu okuva mu bank enkulu eya Uganda bibasoberedde mu kakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government, Ababaka bwebabatadde ku nninga banyonyole engeri sente eziri eyo mu buwumbi...
Ssaabakomera wa Uganda Johnson Byabasaija ayasizza ebiragiro eri Abakulira Amakomera gonna mu Uganda, okunyweeza eby'Okwerinda wonna, era abantu sibakukkirizibwa kukyalira basibe okutuusa nga 18 January,2025. Wabula ekitongole ky'Amakomera kyakukkiriza ebintu...