Abavubuka mu Buganda naddala abayizi b'amasomero bajjumbidde ekyoto ekitegekeddwa ku mbuga y'essaza Kyadondo e Kasangati, ng'emu ku nteekateeka y'okukuza amatikkirwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aga 32....
Mu kwetegekera okujjukira emyaka 32 egy'amatikkirwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, wategekeddwawo okusaba okwenjawulo mu masiinzizo g'abagoberezi ba Kristu okwetoloola Buganda, okwebaza Katonda olw’Ebirungi byawadde Empologoma ya...
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Olukiiko lw’Embuga ya Kisekwa olukulirwa Omuk. Dr. Ssonko Robert Kanaakuloopa-Kisekwa. Kamalabyonna agambye nti olukiiko luno alulinamu essuubi ddene okugonjoola enkaayana zonna ez’ebika ezitwalibwayo, mu bwangu...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abalimi nÁbalunzi mu Bwakabaka okuwabulangana nÓkuwaηana Amagezi ku nnima ezza amagoba, bonna bagaggawalire mu Mwaanyi. Katikkiro abyoogeredde mu Ssaza Kyaggwe bwabadde alambula abalimi...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira ab'enju y'omugenzi era abadde munywanyiwe, Omulamuzi Prof. George Wilson Kanyeihamba. Obubaka bwa Ssaabasajja bwetikiddwa Omulangira Rev Daniel Kajumba, era ng'abukwasizza mulekwa...
Kooti enkulu eyimirizza bonna ababadde besomye okutwala ettaka lya Ssaabasajja Kabaka erisangibwa e Kaazi mu Busiro, nga bagendera ku biragiro bya minister omubeezi owÉttaka nÁmayumba mu government eya wakati Sam...
Obwakabaka bwa Buganda butegeezezza nti tebunaweebwa nsimbi nkalu okuva mu ministry y'ekikula ky'abantu mu government, ezigambibwa zezaakkanyizibwako okubuwa mu kifo ky'emmotoka eziweebwa abakulembeze b'ennono mu Uganda. Government eyawakati yagabidde abakulembeze...
Abavunaanyizibwa ku kwaniriza abagenyi mu Bwakabaka bwa Buganda baweereddwa amagezi babeere basaale mu kukuuma ekitiibwa kyÓbwakabaka, nga bakola emirimu gyabwe mu ngeri ey'ekikugu. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga...