Ttiimu y’essaza Buweekula eyongedde okulaga amaanyi mu mpaka za masaza ga Buganda eziyindira ku FUFA Technical Center e Njeru mu ssaza Kyaggwe, ekubye Mawogola goolo 2-1 n’ekulembera ekibinja Muganzirwazza.
Goolo za Buweekula ziteebeddwa Isaac Musiima ate eya Mawogola eteebeddwa Isiah Sabiiti Apuuri.
Buweekula era yekyasinze okufuna peneti ennyingi mu mpaka z’omwaka guno, nga yakafuna peneti 4.
Kati Buweekula ekulembedde ekibinja Muganzirwazza n’obubonero 7, Buddu yakubiri n’obubonero 7 wabula Buwekula erina goolo 5 ate Buddu 3, Mawogola erina akabonero I, Butambala akabonero I ate Busujju terinayo kabonero.
Omupiira ogwasoosewo Buddu yakubye Busujju goolo 3-1 ezitebeddwa Sengendo Sharif atebyeko 2 ne Bunyaga Bruno emu, ate eya Busujju etebeddwa Ivan Kaweesi.
Empaka zigenda kuwumulamu enkya ku sunday zakuddamu ku Monday, nga Busujju ettunka ne Mawogola ate Butambala ettunke ne Buweekula.