Obwakabaka bwa Buganda nga buli wamu ne bannamukago abakulembeddwamu Rotary International bwanjudde enteekateeka y’Okusonda ensimbi akawumbi ka shilling kamu n’Obukadde lukaaga(1.6billion) ,Okussaawo eddwaliro ly’Eryato eriseyeeyeza ku mazzi, okutuusa obujjanjabi obusookerwako eri abantu ba Kabaka abawangaalira mu bizinga.
Enteekateeka eno yaakuvujjirirwa government ya Kabaka,amasaza agebweru wa Buganda okuli Northern California ne Nevada, Rotary club ye Antioch ne Rotary club ya Kampala Ssese Islands.
Bannamikago aba Buganda Amakula , Northern California ne Nevada bakutoola obukadde 109.5, Rotary club ya Antioch obukadde 60 n’Omusobyo, Rotary club ya Kampala Ssese Islands obukadde 20 ,ate bannamikago abakolagana ne Rotary bakuleeta obukadde 711.75.
Bw’abadde alangirira enteekateeka eno mu Bulange e Mengo, Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Hajji Ahmed Lwaasa ,ategeezezza nti eddwaliro ly’Okumazzi erituumiddwa Muteesa II ligendereddemu okulaba ng’abantu ba Kabaka ababeera ku bizinga bafiirwako mu by’Obujjanjabi.
Minister w’Obwakabaka avunaanyizibwa ku government ez’ebitundu n’okulambula kwa Kabaka Owek. Joseph Kawuki asiinzidde mukwanjula enteekateeka eno nategeeza nti abantu ba Babaka ababeera ku bizinga olussi basanga obuzibu mu kufuna obujjanjjambi.
Ku lwa banna Rotary Mike Kennedy Ssebalu yebazizza Ssabasajja Kabaka olw’okulengerera awala n’okufaayo eru abantu be buli kaseera.
David Kintu kulwa Rotary Club ya Kampala Ssese Islands agambye nti abantu bonna basobola okuwagira enteekateeka eno nga bakozesa namba eteereddwawo eri #2462408 omulimu gwanguwe okukolebwa.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Lubega Mudashiru












