• Latest
  • Trending
  • All
Buganda ezzeemu okukungaanya omusaayi – etandikidde Buweekula

Buganda ezzeemu okukungaanya omusaayi – etandikidde Buweekula

November 9, 2023
Africa Courts Summit Adopts Kampala Resolutions to Strengthen Commercial Justice

Africa Courts Summit Adopts Kampala Resolutions to Strengthen Commercial Justice

May 25, 2025
 Omulamuzi wa Kooti ejulirwamu e Bungereza Sir. Geoffrey Vos akyaddeko mu Bwakabaka bwa Buganda

 Omulamuzi wa Kooti ejulirwamu e Bungereza Sir. Geoffrey Vos akyaddeko mu Bwakabaka bwa Buganda

May 25, 2025
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za  Uganda

Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za Uganda

May 24, 2025
Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

May 24, 2025
MUBS etikidde 510  – mulimu abasibe

MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe

May 23, 2025
Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

May 23, 2025
Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

May 23, 2025

UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

May 22, 2025

FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

May 22, 2025

Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire

May 22, 2025

President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze

May 22, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

May 22, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Buganda ezzeemu okukungaanya omusaayi – etandikidde Buweekula

by Namubiru Juliet
November 9, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Buganda ezzeemu okukungaanya omusaayi – etandikidde Buweekula
0
SHARES
197
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Obwakabaka bwa Buganda butongozza enteekateeka y’okukungaanya omusaayi okwetoloola amasaza gonna 18 okuyamba ku bagwetaaga.

Eno ye nteekateeka ey’okukungaanya omusaayi nga Buganda eyita mu kitongole kya Kabaka Foundation ne bannamikago ey’omulundi ogw’okubiri.

Egenda kutandikira mu ssaza Buweekula ne Buddu ng’omwaka 2023 tegunagwako, amasaza amalala gagoberere ku ntandikwa y’omwaka ogujja 2024.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu bubaka bwe bweyatisse minister w’enkulaakulana y’abantu era atwala ebyobulamu, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko, alagidde abantu be okwongera okuwagira enteekateeka eno egendererwamu okuyamba n’okutaasa abalwadde abetaaga omusaayi.

Ebiwandiiko biraga nti abakyala bannakazadde 18 bafiira mu ssanya buli lunaku ng’entabwe okusinga eva ku kuvaamu musaayi mungi ate nga tewali gubassibwako!

Mu nteekateeka eno Kabaka Foundation yeetaaga ensimbi ezisoba mu kawumbi okutalaaga amasaza gonna okukungaanya omusaayi unit emitwalo 25.

Omulundi ogwaggwa, abantu ba Ssaabasajja bawaayo omusaayi Unit emitwalo 157,798 nga gwakungaanyizibwa okuva mu masaza 14.

Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika, agambye nti enteekateeka eno singa eba okwatiddwa bulungi, ekiruubirirwa kya Ssaabasajja kijja kuvaayo.

Omukolo guno gwetabyeko ne Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere eyeeyamye ku lwa bakulembeze b’eddiini nti baggya kuyamba nnyo mu kukunga abakkiriza bettanire okuyamba abalala nga bawaayo omusaayi.

Mu ngeri yeemu omukolo gwetabyeko ne Bishop Michael Ssennyimba, era ssentebe wa bboodi ya Kabaka Foundation.

Ssaabawandiisi wa Uganda  Red Cross Society , Robert Kwesiga yeeyanzizza Ssaabasajja olw’enteekateeka eno, gyagambye nti ebayambyeko ku ddimu ly’okunoonya omusaayi kubanga eddoboozi lye abantu baliwulira era nebakola kyalagidde.

Kwesiga agambye nti okuva Kabaka Foundation lweyatandika okukungaanya omusaayi, obungi bwagwo bweyongera era guganyudde banna Uganda bonna awatali kusosola.

Waliwo bannamukago abeeyamye okuwaayo obuyambi olw’okwanguyizaako enteekateeka eno okugenda obukwakku, nga kuliko aba Stanbic Bank obukadde 20, Supreme Marka obukadde bubiri, Civil Aviation Authority obukadde bubiri,  State Wide Insurance obukadde bubiri, Finance Trust Bank akakadde kamu, RSM Eatern Africa emitwalo 50, Old Kampala Hospital (Niwagaba Dickson) emitwalo 50, Ever Best Industry obukadde bubiri mu emitwalo 50,  CBS  obukadde 120 mu kukunga abantu wamu ne BBS obukadde 150 mu kukunga abantu.

Mu balala abasuubizza okuwaayo obuyambi kuliko; – Uganda National Oil Company (UNOC), National Drug Authority, Mengo Hospital, Plascon Paints, Equity Bank ne Mandela Group of Companies.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Africa Courts Summit Adopts Kampala Resolutions to Strengthen Commercial Justice
  •  Omulamuzi wa Kooti ejulirwamu e Bungereza Sir. Geoffrey Vos akyaddeko mu Bwakabaka bwa Buganda
  • Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu be ababeera emitala w’amayanja okunyiikira okusomesa abavubuka obuwangwa n’ennono za Uganda
  • Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde
  • MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -