Obwakabaka bwa Buganda budduukiridde amasomero mu ssaza Buvuma n’obuyambi bw’ebitabo ebiwandiikibwamu abayizi wamu n’Enkuluze Y’olulimi Oluganda mu kaweefube w’okuyitimusa eby’enjigiriza ebikyali wansi mu ssaza eryo.
Bwabadde akwasa minisita w’ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ebitabo bino mu Bulange e Mengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga, agambye nti kino kikoleddwa okuyamba ku baana ba Ssaabasajja mu ssaza eryo.m nabo okuganyulwa mu by’enjigiriza babeere ku mulembe.
Buvuma yeemu ku district ezikola ebubi ennyo mu bibuuzo eby’akamalirizo ku mitendera gyonna okusinziira ku kitongole ky’ebyebigezo.
Embeera eno kigambibwa eva ku baana okumalira obudde bwabwe mu buvubi olw’ennyanja ebeetoolodde, embeera embi ey’amasomero, abasomesa bangi batya okukolera ku bizinga n’ensonga endala.
Mu ngeri yeemu Omukungu Christopher Kalyesuubula akulira essomero lya Lubiri Nnaabagereka Primary School mu Lubiri e Mengo mu butongole eyanjulidde Obwakabaka, ebyava mu bibuuzo by’abayizi ba P.7 ab’omwaka oguwedde 2022.
Essomero lino lyatuuza abayizi 60, 31 nebayitira mu ddaala erisooka ate 29 mu ddaala ery’okubiri.
Ebyavaamu Omuk. Kalyesuubula abikwasizza minisita w’ebyenjigiriza Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma mu Bulange e Mengo.
Olusooma olusooka olw’omwaka guno lutandika nga 6 Mukutulansanja (February) so ng’abayizi ba S.1 baakutandika nga 20 omwezi gwegumu.
Ow’ekitiibwa Nankindu agambye nti amasomero n’amatendekero aga Buganda gonna geeteeseteese bulungi okwaniriza abayizi n’okubawa eby’enjigiriza ebiri ku mutindo ate nga sibyabuseere.
Bisakiddwa: Kirumira Musa(MK)