Bishop Joseph Anthony Zziwa, Omusumba w’essaza lya Kiyinda Mityana era Ssentebe w’Olukiiko lw’Abeepisikoopi mu Uganda akiise embuga mu Bulange e Mengo, n’asisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga nebawayaamu ku nsonga ez’enjawulo.
Bishop Zziwa awerekeddwako Fr. Dennis Kyemwa ne Fr. Emmanuel Tamale.
Katikkiro abadde ne minister wa government ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki ne minister w’olukiiko ne cabinent Owek. Noah Kiyimba.
Bogedde ku ensonga ezikwata ku kwongera okuzimba Obwakabaka ne Klezia.