Ekitongole kya KCCA kigadde oluguudo lwa Binaisa road oluva ku Nkulungo ye Mulago okudda ku nkulungo yo Kubbiri ku Gayaza road, olw’entekateeka ezikolebwa okuddaabiriza oluguudo luno.
Omulimu gw’oddaabiriza kuno gusuubirwa okukomekkerezebwa olwaleero olwa friday.
Rogers Nsereko Kawuma adduumira police y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano asabye abantu abasinga okukozesa Binaisa Road okunoonya enguudo endala eziyingira mu Kibuga oba mu ddwaliro e Mulago#