Okugaba omusaayi mu ssaza ssingo kutandise na maanyiJ Juliet Namubiruto mawandaronald1
3 hours agoDetails

Okugaba omusaayi mu ssaza ssingo kutandise na maanyi
Abantu ba Ssabasajja Kabaka abé Ssingo batandise na maanyi mu kujjumbira okugaba omusaayi okugenda okumala ennaku ttaano nga kuyindira mu ssaza eryo.
Ekitongole kya Kabaka Foundation kyekiwomye omutwe mu nteekateeka yókukungaanya omusaayi mu nkola ey’okuvugany, ,nga kino kyava ku bbula ly’omusaayi eryaliwo mu ggwanga mu biseera ebyomuggalo, olwábayizi abasing okugaba omusaayi okuba nga baali tebakyali ku masomero.
Essaza Kyadondo lyerikyasinze okukunganya omusaayi omungi 18,318, Busiro 9,345 Buddu unit 8,196.
Olunaku olweleero okugaba omusaayi mu Ssingo kutandikidde mu goombolola 3 okuli Mumyuka Busimbi ,Ssabbagabo Ssekanyonyi Mutuba VIII Kikanddwa ne Busaale Bulera ,mu bitundu okuli Namutamba Trading Center ,Namutamba PTC,Bakijjulula ,Kawoko Trading Center ,Muteetema Trading Center ,ne Kyamusisi Kigoogwa.
Okugaba omusayi kuwagiddwa Radio CBS, BBS Terefayina, Ministry ye by’obulamu mu Buganda, Uganda Red Crosss, ne Uganda Blood Transfusion Services.