Banna Kibiina ki NRM mu district ye Luweero batandise okuzimba ekizimbe kwebanassa wofiisi zabwe bawone obupaangisa.
Bakulembeddwamu commissioner w’akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina kya NRM mu gwanga, James Kinobe.
Ettaka kwebazimba baaligula obukadde bwa shs kikumi mw’ataana (150m), nga zino zezimu ku nsimbi obukadde 300 Ssentebe w’ekibiina kino mu gwanga Yoweri Kaguta Museveni zeyabawa.
Liweza yiika namba, ng’ekiziimbe okuggwa kisuubirwa okuwemmenta obuwumbi bwa shs 3.
Ettaka lisaangibwa ku kyalo Naluvule mu Luweero ku luguudo mwasanjala oluva e Kampala okudda e Ggulu.#
Bisakiddwa: Taaka Conslata