Okugaba omusaayi mu ssaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’ eBulemeezi kutandise, abantu bajjumbidde.
Enteekateeka eno etandikidde mu ggombolola 3 okuli Mumyukansege – Butuntumula, Mukuma – Katikamu ne Kasekka – Bamunaanika.
Ekitongole kya Kabaka Foundation kyekigiwomyemu omutwe, nga bayambibwako ekitongole ky’eggwanga eky’ omusaayi ki Uganda Blood Transfusion Services ne Uganda Red Cross Society.
Mu nteekateela eno mulimu okukunga n’okusomesa abantu okugaba omusaayi okumalawo ebbula ly’omusaayi mu ggwanga.
Omwami w’essaza Bulemeezi Kangaawo Ronald Mulondo asabye abantu ba Ssaabasajja okusoosowaza eby’obulamu mu ggwanga.
Unit z’omusaayi 2421 zezigabiddwa bannabulemeezi ku lunaku olusoose.